TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ayiekho ali ku kibalo okuva mu kibinja kya University League

Ayiekho ali ku kibalo okuva mu kibinja kya University League

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

OMUTENDESI wa MUBS Charles Lukula Ayiekho ali ku kibalo mu liigi ya Pepsi University League oluvannyuma lw’okulemererwa okukuba Kyambogo ku lwokuna mu kisaawe e Kyambogo.

Dsc0006 703x422

Omutendesi Charles Ayiekho ng'awa ebiragiro

Bya GERALD KIKULWE

MUBS oluvannyuma lw’okukwata ekyokusatu mu kitundu kya sizoni eno ekyasooka n’obubonero 4 emabega wa Kyambogo ne YMCA, baabadde betaaga buwanguzi okutangaaza emikisa gy’okuva mu kibinja C wabula byagaanye nga tewali alabye katimba ka munne.

Okuva mu 2012 Liigi ya Yunivasite lwe yatandika, MUBS teremererwangako kuva mu kibinja, batuuse ku fayinolo emirundi esatu ne bawangula ekikopo emirundi ebiri, omutendesi Ayiekho kati ali ku kibalo okuwangula emipiira ebiri gy’asigazza ate YMCA bagikube oba waakiri ekole amaliri mu gy’esigazzaayo esatu.

“Okukulembera ekibinja kigaanye kati nina kulwana kulaba nga mpangula egisigaddeyo, singa YMCA ekola ensobi ne bagikubamu gumu awo kiba kinkolera,” Ayiekho bwe yategeezezza.

Kyambogo University y’ekulembedde ekibinja C n’obubonero 8, MUBS 5, YMCA 4 ne MUST akabonero kamu

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Santi22 220x290

Bamukakasizza ku butendesi bwa...

Solari, eyazannyirako Real wakati wa 2000 ne 2005, okuva lwe yakwata enkasi ya kiraabu eno ng'omutendesi, yaakawangula...

Swingsmadeoutoftireswebuse 220x290

Weenogere ssente ng’oyongera omutindo...

Buli kintu ekiva ku mmotoka tokisuula kuba kirimu ssente ssinga olowooza n'obyongerako omutindo.

Nkonerako 220x290

Nnoonya alina "waaka"

Njagala omukyala alina ku ssente, amanyi omukwano, ng’ali wakati w’emyaka 20-30, talina siriimu kuba nange ndi...

Umar1 220x290

Umar Mwanje atandise okulya ku...

OMUYIMBI Umar Mwanje (ku ddyo) eyayimba ennyimba nga ‘‘Omwana wa musajja, Ttivvi y’omu ddiiro, Nnina ekyejo n’endala...

Buyaga 220x290

Dr. Kisembo anoonya ki e Buyaga?...

DR. Emmanuel Kisembo y’omu ku baalwanirira abatuuze b’e Bukasa, Namataba n’e Kito mu Kira obutagobwa ku ttaka...