TOP
  • Home
  • Rally
  • Munnakenya yeddiza engule ya Afrika

Munnakenya yeddiza engule ya Afrika

By Nicholas Kalyango

Added 3rd September 2018

Baryan ne Drew Sturrock (amusomera maapu), basoose kwefuga lunaku lusooka (Lwamukaaga) nga tannamegga banne ng’olugendo lwa kiromita 207.78 yaluvugidde essaawa 1:42:16.

Manvir3 703x422

Baryan ng'avuga emmotoka ekika kya Skoda mw'avuganyiriza. Wano yali mu mpaka za Pearl of Africa Rally mu Uganda.

1. Manvir Baryan/Drew Sturrock 1:42:16

2. Randeep Birdi/Zunair Piradina 1:48:49

3. Kleevan Gomes /Ezra Gomes 1:53:25

4. Tufail Amin/Victor Jackson   1:54:23

5. Harinder Deere /Awdh Bafadhi 1:54:46

6. Leroy Gomes /Riyaz Latife 1:56:16

6. Leroy Gomes /Riyaz Latife 1:56:16

7. Pierro Cannobio/Masina Palitta 1:56:21

NG’EBULA empaka za mulundi gumu ku kalenda y’engule ya Afrika mu mmotoka z’empaka (ARC), Munnakenya Manvir Baryan yeddiza engule eno bwe yawangudde empaka za ‘Tanzanian Rally’ ezaabaddewo ku Lwomukaaga ne Ssande.

Baryan ne Drew Sturrock (amusomera maapu), basoose kwefuga lunaku lusooka (Lwamukaaga) nga tannamegga banne ng’olugendo lwa kiromita 207.78 yaluvugidde essaawa 1:42:16. Empaka zeetabiddwaamu abavuzi 27 wadde nga 8 bokka be baabadde bavuganya ku ARC.

 aryan ku kkono nomusomi wa maapu we turrock ku ddyo ngababuuza ku pulezidenti wa  usman kee Baryan (ku kkono) n'omusomi wa maapu we Sturrock (ku ddyo) ng'ababuuza ku pulezidenti wa FMU, Dusman Okee

Bwe babadde basinga okubeera ku mbiranye ku ngule eno, Munnakenya munne, Pierro Cannobio, yakutte kyamusanvu.

 ierro annobio ku ddyo ne asina alitta amusomera maapu be babadde basinga okuvuganya ne aryan ku ngule ya frika Pierro Cannobio (ku ddyo) ne Masina Palitta amusomera maapu be babadde basinga okuvuganya ne Baryan ku ngule Afrika.

 

Ku kalenda ya ARC ey’omwaka guno, Baryan awangudde empaka za mirundi ena okuli; ez’e Zambia, South Afrika, Uganda (Pearl of Africa Rally) n’e Tanzania. Engule yagiwangulidde ku bubonero 100 nga kati mu mpaka z’e Rwanda eziggalawo kalenda omwezi ogujja ne bw’atavuga. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi2 220x290

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano...

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano

Educationpanel703422 220x290

Batadde Gav't ku nninga ku by'okusuubiza...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti kagitadde ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza ekisuubizo...

Mulagospecialisedwomenandneonatalhospital3 220x290

Eddwaliro ly'e Mulago eppya liseera...

ABABAKA ba palamenti balaze okutya olw’eddwaliro ly’e Mulago eppya erya gavumenti erijjanjaba abakazi okuba nga...

Gamba 220x290

Ababaka beeyongezza ensimbi mu...

ABABAKA ba palamenti bazzeemu okweyongeza ensako. Okusinziira ku biwandiiko ebikwata ku bajeti egenda okusomwa...

Kujjukiralubiri1 220x290

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya...

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya Lubiri e Mmengo lulumbibwa Obote