TOP

Mustafi bamunoonyerezaako ku kusanyukira ggoolo ku Cardiff

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

Omuzibizi wa Arsenal, Mustafi ali mu kattu olw'okuyingiza ebyobufuzi mu mupiira.

Mustafi 703x422

Omuzibizi wa Arsenal, Mustafi ali mu buzibu

OMUZIBIZI wa Arsenal, Shkodran Mustafi yandibonerezebwa olw’okujaganyiza ggoolo.

Omuzannyi ono yateebedde Arsenal ggoolo esooka nga bawangula Cardiff City ggoolo 3-2 wabula obuzibu bulabise okumujjira singa FA eneebiyingiramu.

Engeri Mustafi gye yajaganyirizzaamu ggoolo ye egambibwa nti erimu ebyobufuzi ebiwagira eggwanga lya Albania okufuna obwetwaze.

Enjaganya y’emu, yazaalira Granit Xhaka ne Xherdan Shaqiri ebizibu mu World Cup bwe baali bazannyira Switzerland era FIFA n’ebaweesa engassi olw’okuyingiza ebyobufuzi mu mupiira.

 Mustafi alina akakwate ku ggwanga lya Albania kuba wadde nga yazaalibwa mu Girimaani, bakadde be bava mu Albania.

Arsenal yawezezza obubonero mukaaga ku mu mipiira ena era nga kati eri mu kyamwenda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta