TOP

Omutendesi wa Police FC alabudde

By Moses Kigongo

Added 4th September 2018

Omutendesi wa Police FC, Abdallah Mubiru alabudde ttiimu bwe bavuganya mu liigi okwesonyiwa omuzannyi we Albert Mugisha

Policeweb 703x422

Omutendesi wa Police FC, Abdallah Mubiru (ku kkono) ng'alina by'afalaasira abazannyi mu kutendekebwa ku Mmande

OMUTENDESI Police FC, Abdallah Mubiru alabudde ttiimu ezeegwanyiza omuzannyi we Albert Mugisha okumwesonyiwa.

 

Bino we bigyidde ng’amawulire agava mu nkambi ya SC Villa galaga nga bwe yamaze edda okukansa Mugisha ku ndagaano ya myaka ebiri.

 

Wabula Mubiru yakikkaatirizza nti Mugisha akyalina endagaano ate nga bamutaddemu ebintu bingi nga tebayinza kumala gamuteera ttiimu bwe bavuganya ku kikopo.

 

Kyokka James Serebe, akulira emirimu mu Villa, yagambye nti ensonga za Mugisha zikyali mu kakiiko akaloondoola abazannyi nti era kino bwe kinaggwa, Police ejja kuba tekyamulinako buvunaanyizibwa.

 

Police eri mu kwetegekera liigi ya  sizoni eno era egenda kuzannya emipiira egy’omukwano egy’enjawulo. Leero ku Lwokubiri eri ne Ntinda United, ate ku Lwokusatu battunke ne Express.

 

Sizoni ewedde, Police yamalira mu kyamusanvu mu liigi, nga ku luno bagamba nti baagala kikopo. Mu mbeera eno bayongedde okwenyweza bwe bakansizza abazannyi ab’enjawulo abanaabayamba mu kampeyini eno.

 

Abazannyi abaakansiddwa kuliko; James Alitho abadde ggoolokipa wa Vipers, Frank Tumwesigye (Zaga),Hassan Kamulegeya ne Fahad Mugume abazze ku bbanja okuva mu Vipers. Abalala ye; Joseph Ssentume (Bumate FC),Ronald Nyanzi (tabadde na kiraabu) ,Silver Lukyamuzi (Nyendo United) ne Johnson Odong okuva mu Kibuli United.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo