TOP

USPA eronze She Cranes ne Kiplimo

By Silvano Kibuuka

Added 4th September 2018

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo balonze ttiimu ya She Cranes (ey’eggwanga ey’okubaka) ku bizannyi bw’omwezi gwa August nga bagisiima okuwangula empaka za Africa wamu n’okuyitamu okuzannya mu z’ensi yonna ezinabumbujjira mu kibuga Liverpool mu Bungereza omwaka ogujja.

Uspamonthlyassembly2sept32018 703x422

Pulezidenti wa USPA aliko Sabiiti Muwanga ng'aliko by'annyoyola ba mmembe ku woteeri ya Imperial Royale Hotel Sept 3 2018. Ku ddyo ne ,Sept 3 2018. Ku ddyo ye Mmemba wa USPA omu ku baagitandikawo. (ekif:Silvano Kibuuka)

Abakyala bano mamezze ttiimu y’omupiira eya bamusaayimuto eya Cubs U-17 eyawangudde empaka za CECAFA ez’emyaka egyo ezaabadde mu ggwanga lya Ethiopia nga baayiseemu okuzannya mu za Africa.

She Cranes ewangulidde ku bubonero 325 ku 305 wakati mu kuvuganya mu lutuula lwa bannamawulire olubadde ku Imperial Royale Hotel mu Kampala.

Bannamawulire era awatali kwetemamu balonze omuddusi Jacob Kiplimo ku buzannyi bwa July nga bamusiima okuwangulira Uganda omudaali gwa feeza mu mpaka z’ensi yonna ez’abali wansi w’emyaka 20 eza World Youth Championships ezaabadde mu ggwanga lya Finland.

Basiimye n’omukubi w’ebikonde Joey Vegas Lubega eyawangulidde Uganda omusipi gwa UBO ogw’ensi yonna mu buzito bwa Cruiserweight (kiro 86) bwe bakubye Karama Nyirawira owa Tanzania mu nsitaano eyabadde e Lugogo.

Bagasseeko ttiimu ya KAVC eya Volleyball eyawangudde empaka ezeetabiddwamu amawanga agawerako e Lugogo nga baamezze ttiimu ya Rwanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda