TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Mawokota ewera kutwala kikopo ky'Amasaza

Mawokota ewera kutwala kikopo ky'Amasaza

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2018

Ttiimu ya Mawokota yeesozze 'quarter' y'emipiira gy'Amasaza n'ewera ng'ekikopo ky'omwaka guno bwe kiri ekyayo

Mawoweb 703x422

Kapiteeni wa Ssingo Edward Satro (ku kkono) ng'alwana okuggya omupiira ku Theodor Makubuya owa Mawogola.

Mawokota  1- 1 Busiro

Mawogola  0- 1 Ssingo

Bugerere    1- 1 Butambala

Buvuma - Buluuli (Teyalabiseko)

 

ESSAZA lya Mawokota oluyiseewo okwesogga ‘quarter’ y’emipiira gy’Amasaza ne liwera nga bwe litagenda kukkiriza ttiimu yonna kwekiika mu kkubo lyayo ery’okuwangula ekikopo kino sizoni eno.

 

Mawokota okuyitawo, yagudde maliri (1-1) ne Busiro ne beenkanya obubonero (17) kyokka Mawokota n’eyitirawo olwa ggoolo ennyingi zeteebye mu mpaka. Omupiira gwabadde ku  kisaawe kya Police e Mpigi.

 

Richard Basangwa owa Mawokota ye yasoose okuteeba mu ddakiika ey’e 21, Bannabusiro, abaabadde bakimanyi nti ttiimu yaabwe okuyitawo erina kuwangula, emitima ne gibeewanika. Busiro bwetyo yayongedde ku nnumba zaayo  era mu kitundu ekyokubiri ne zivaawmu ebibala bwe yafunye ggoolo eyeekyenkyanyi mu ddakiika ey’e 56. Ggoolo yateebeddwa Brian Kayanja.

 

Okuva Busiro lwe yafunye ggoolo eno, obunkenke bw’eyongedde nga Busiro enoonya ggoolo obutaweera, sso nga aba Mawokota basabirira kimu, ddiifiri kufuuwa ddenge evvanyuma.

 

Ng’omupiira gukomekkerezeddwa, abawagizi ba Mawokota baabinuse masejjere, ne bawera nti tebalina ttiimu gye bagenda kukkiriza kubaggya ku mulamwa

 

Oluzannya lwa ‘quarter’ lutandika ku Ssande nga  September 9.

  

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima