TOP

Titi Kamara ali ku bunkenke mu gwa Yunivaasite

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2018

OMUTENDESI wa K.U Titi Kamara ali ku bunkenke mu liigi ya Yunivasite okusomosa ttiimu ku mutendera gwa “Quarter” oluvannyuma lw’okungaanya obubonero 3 bwokka mu kitundu ekyasooka.

Abakungubak 703x422

Omutendesi Kamara ng'awa abazannyi obukodyo

Bya GERALD KIKULWE

Pepsi University League

Egizannyibwa Wiiki eno

K.U – Nkumba(Lwakusatu)

MUBS – YMCA(Lwakuna)

UMU – IUIU(Lwakutaano)

UCU – Kumi(Lwamukaaga)

Bugema – Gulu(Ssande)

Bannantameggwa ba Liigi eno emirundi ebiri (2013,2016)bali mu kibinja B omuli Nkumba University, Busitema University ne St Lawrence University wabula ekitundu ekyasooka kyabayisa bubi ne bawangula omupiira gumu gwokka ekitadde omutesi ku ccupa nti kati alina okuwangula emipiira gyonna esatu okuyisaawo ttiimu ku “Quarter”

K.U leero(lwakusatu) baddingana ne Nkumba University ku kisaawe kya Villa Park nga baagala kwesasuza oluvannyuma lw’okukubwa ggoolo 3-1 e Nkumba nga kati omutendesi Kamara ayagala kwesasuza okutangaaza emikisa gya ttiimu.

“Sizoni ewedde (2017)kyatuyisa bubi okuwandukira ku “Quarter” nga ku luno twandyagadde waakiri twandyagadde okukola eky’enjawulo era tugenda kufiira ku muntu okulaba nga tufuna obuwanguzi mu mipiira gyonna esatu okutandika ne leero,”Kamara bwe yaweze.

St. Lawrence (SLAU) y’ekulembedde ekibinja B n’obubonero 7, Nkumba obubonero 4,K.U  3 ne Busitema 3.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...