TOP

Aba KIU bayomba mu liigi ya Yunivasite

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2018

ABAZANNYI ba KIU mu Pepsi Universite League bayomba olw’abaddukanya eby’emizannyo mu Yunivasite eno okubasuulirira nga kati beetendeka bokka oluvannyuma lw’omutendesi waabwe okusuulawo ttawulo gye buvuddeko.

Abazannyibakiungabeekozesatuleyiningi1 703x422

Bya GERALD KIKULWE

Egizannyibwa wiiki eno

MUBS – YMCA(Leero)

UMU – IUIU(Lwakutaano)

UCU – Kumi(Lwamukaaga)

Bugema – Gulu(Ssande)

KIU yakoze amaliri ga ggoolo 1-1 ku lwokubiri mu kisaawe e Nsambya mu mupiira gwabwe ogw’agguddewo ekitundu kya sizoni ekyokubiri mu kibinja D wabula ng’abazannyi bagamba nti n’okufuna akabonero kano Katonda yazizza bibye kuba babadde tebatendekebwa, ebikozesebwa tebalina, omutendesi waabwe Herbert Tsama yabaddukako kyokka baagala okusigala mu Liigi eno naye embeera eyinza obutabaganya singa be kikwatako tebasitukiramu.

Abazannyi abasangiddwa ku Kisaawe e Nsambya nga bagezaako okwekwanyakwanya nga bayambibwako omusomesa Jeff Akabwai ne Kapiteeni waabwe Jonnathan Ogwanga bagamba nti ku luno Yunivasite yaabwe ebadde n’omukisa okwesogga oluzannya lwa “Quarter” wabula beeraliikirivu nti kiyinza obutasoboka.

“Yunivaste yaffe emaze ebbanga nga teva mu kibinja lwa butakwatagana obuli mu bukulembeze bw’eby’emizannyo kye nsuubira nti kye kyaviiridde omutendesi waffe okuleka omulimu, wabula ffe tugenda kukola kye tusobola  naye embeera si nnungi,” Ogwanga Kapiteeni wa KIU bwe yagambye.

Omusomesa Jeff Akabwai agamba nti anyumirwa nnyo eby’emizannyo era y’ensonga lwaki yakwatiddwaako okuyambako abavubuka bano naye ng’asuubira nti embeera ejja kudda mu nteeko.

“Tuleyiningi tugikoledde ennaku bbiri zokka,essaala yaffe kwe kuwangula emipiira ebiri egisigaddeyo okutuuka ku “Quarter” olwo ate tulabe ekiddako,” Akabwai bwe yategeezezza.

KIU eri mu kifo kya 3 n’obubonero 4 mu kibinja D, UMU y’ekikulembedde n’obubonero 8, IUIU 6 ne Bishop Stuart obubonero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba