TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Asimbidde eky'okufuula Xhaka kapiteeni wa Switzerland

Asimbidde eky'okufuula Xhaka kapiteeni wa Switzerland

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

Xhaka tamanyi nnono ya ggwanga lyaffe ekiyinza okunyiiza abazannyi ababitegeera obulungi.

Xhakaswitzerland 703x422

Omuwuwuttanyi Xhaka gwe basimbidde ekkuuli okulya obwakapiteeni wa Switzerland.

Stephane Henchoz, eyali omuzibizi wa Liverpool nga nzaalwa y’e Switzerland, avumiridde abakungu ba ttiimu y’eggwanga eryo olw’okwagwala okuwa Granit Xhaka, omuwuwuttanyi wa Arsenal obwakapiteeni.

Omanyi kapiteeni wa ttiimu eyo mu kiseera kino Stephan Lichtsteiner anaatera okunnyuka okuzannyira ey’eggwanga era bali ku muyiggo gwa kapiteeni mupya.

Henchoz agamba nti Xhaka wadde nga nzaalwa y’e Switzerland, alina akalandira k’e Albania era talina mutima gulumirirwa ggwanga eryo.

“Obwakapiteeni bwetaaga omuzannyi alina eggwanga lye ku mutima sso si bano abababeera n’akalandira awalala,” Henchoz bw’agamba.

Ayongerako nti singa bagenda mu maaso ne bamuwa obwakapiteeni, abazannyi nga Yann Somer, Fabian Schar abamanyi obulombolombo bw’eggwanga lino, kijja kubayisa bubi.

Bazadde ba Xhaka omu nzaalwa y’e Kosovo ate omulala asibuka mu Albania nga e Switzerland baasengayo busenzi.

Omuwuwuttanyi ono, yaakazannyira Switzerland emipiira 66 n’abateebera ggoolo 10.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu