TOP

Star Times erambuludde bw'egenda okuddukanya Super League

By Silvano Kibuuka

Added 6th September 2018

Abatadde ssente mu mupiira gwa Uganda aba Star Times batangazizza ku nkola yaabwe mwe bagenda okuddukanyiza emirimu nga tebakontana na bitongole bya mawulire biri kati mu nsiike.

Siriiko 703x422

Omumyuka wa Pulezidenti wa Star Times era kitinzu w'ekitongole ekyo Aldrine Nsubuga(SNR) (ku ddyo) ng;ali n'omwogezi wa Star Times Christine Nagujja mu lukiiko lwa bannamawulire e Namboole(ekif:Silvano Kibuukaq)

Omumyuka wa Pulezidenti wa Stat Times era akulira obwa kitunzi Aldrine Nsubuga SNR ategeezezza bannamawulire nti baaguse ku FUFA ebintu bibiri okuli erinnya lya liigi n’olw’okufulumya amawulire n’ebifaananyi naddala ebya TV n’eku mikutu gy’amasimu.

“Twaguze ebintu byombi okuva mu FUFA ku ddoola za Amerika 7.24 (eza Uganda obuwumbi 28),” Nsubuga bw’ategeezezza.

Agambye nti ebitongole by’amawulire ebitavuganya nayo (ebifulumya amawulire agatali gaakusasulira okugeza ebitatunda dikooda) bijja kukkirizibwa okufulumya ebifaananyi nga bisoose kwewandiisa mu Star Times n’okusaba.

Nsubuga era atangazizza nti bbo tebannasasulira makiraabu ga Uganda ng’abasinga bwe balowooza.

“Kiraabu za ddembe okwefunira abaziteekamu ensimbi kasita tebakontana ne bye twaguze,” bwe yayongeddeko.

Akakasizza nti Star Times yaakulaga emipiira 100 egya liigi nga bataddewo n’omukutu omupya ogwa ‘Sanyuka’ nga gwakulabwa mu mawanga gonna 38 agalimu empeereza ya Star Times mu nsi yonna.

Ye omukungu wa FUFA Rogers Byamukama ategeezezza nti abantu baandisiimye ku nkulakulana eno kubanga egenda kwongera okutumbula omupiira gwa Uganda.

Aba Uganda Premier League bakakasizza nti eggulwawo nga September 28 nga ttiimu zonna 16 zaakubeera mu nsiike.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabamazimabugagga14webuse 220x290

Kasasiro tumukolamu ebigimusa n'okutunda...

Ekibiina kya bakawenja kituyambye okwegobako obwavu nga tutunda kasasiro n'okukola amanda.

Hivnalubowa14webusennn 220x290

Nagaana okunziza awaka okufiira...

Nagaana okufiira ku kiggya ne nva ku b'eng'anda abaali bampaddeyo okufa ne nnoonya abanamponya era kati nze nsomesa...

Archbishopwilberforcekityoluwalirathenamirembedioceseheadrehabilitationmarathonrun2017willbeheldatthenamirembecathderalgroundsonapril2920171 220x290

Bp. Luwalira yennyamidde ku ttemu...

OMULABIRIZI ‘e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira awadde obubaka bw’amazuukira n’alaga okwennyamira...

Kig7 220x290

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20...

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20 ku katabo ke n'obulamu bwe.

Abamukubakulembezebekasawoababaddebeetabyemulukungaanaluno 220x290

Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba...

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva...