TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omuzibizi wa Arsenal akubye ebituli mu bukodyo bwa Wenger

Omuzibizi wa Arsenal akubye ebituli mu bukodyo bwa Wenger

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2018

Twayingiranga ekisaawe nga tetulina notisi kwe tuzannyira k'ebeere ttiimu nnene oba ntono

Wenger 703x422

Bellerin (ku ddyo) bwe yali ne Wenger ng'akyabatendeka gye buvuddeko.

OMUZIBIZI wa Arsenal, Hector Bellerin alumbye eyali omutendesi we, Arsene Wenger nti obukodyo bwe bwali bufu nnyo.

Bellerin, ow’emyaka 23, agamba nti mu kiseera kino nga bali wansi w’omutendesi Unai Emery, gye balaga balabayo era ebintu bijja kutereera.

Arsenal, yakubwa emipiira ebiri egyasooka okuli ogwa Man City 2-0 ssaako Chelsea (3-2) kyokka Bellerin agamba nti nagyo baabakubira mu maanyi.

“Ku mulembe guli, omutendesi yabasindikanga mu kisaawe nti muzannye nga talina notisi z’abawadde k’ebeere ttiimu nnene oba ntono.

“Mu kiseera kino, tuyingira nga tulaba bwe tugenda okukwatamu omulabe,” Bellerin bwe yagambye.

Arsenal yawangula West Ham (3-1) ne Cardiff (3-2) era ku Lwomukaaga, baakuttunka ne Newcastle.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte