TOP
  • Home
  • Rally
  • Empaka za mmotoka e Hoima zinyize abanene

Empaka za mmotoka e Hoima zinyize abanene

By Nicholas Kalyango

Added 9th September 2018

Abavuzi abaamannya mmotoka z'empaka zibanyize e Hoima. Jas Mangat abadde akulembedde engule tazimazeeko. Ziwanguddwa Hassan Alwi

Mangatweb 703x422

mmotoka ya Jas Mangat nga tannawanduka mu mpaka z'e Hoima

Hassan Alwi          1:59:40.5
Suzan Muwonge    2:02:33.3
Musa Kabega        2:04:14.5
Ronald Ssebuguzi 2:05:34.0
Christakis Fitidis    2:06:20.3

ERINNYA lya 'Kabalenga' lituukidde  ku mpaka za ‘UMOSPOC Kabalega Rally’, abawagizi b'abavuzi abaamannya bwe bavuddeyo nga buli omu yeesoza. Abavuzi okuli; Jas Mangat, Duncan Mubiru 'Kikankane' ne Ronald Ssebuguzi, buli omu yavuddeyo akkirizza nti empewo z'eyali Omukama wa Bunyoro, Kabalega, tezaabasimye.


Mangat, yasoose n'akulembera empaka zino ezaabadde e Hoima  ku Lwomukaaga lwonna wabula ku Ssande  n’awandukira ku lukontaana olw’olwokutaano n'awanduka.

 sebuguzi Ssebuguzi

 

Oluvannyuma Ssebuguzi yakulembedde, kyokka naye bweyatuuse mu lukontana olwomusanvu emmotoka ye n’eyabika 'turbo' , kyokka n’alwana okumalako era n’amalira mu kyokuna. Kikankane ye yawandukidde mu lukontana lwamukaaga.

 assan lwi Hassan Alwi

 

Hassan Alwi

 

Hassan Alwi ye yawangudde empaka zino ne yeeddiza ekikopo omulundi ogw’okubiri ogw’omudding’anwa kyokka n’ategeeza nga bwateebalira ku ngule ya mwaka, nti era alindiridde yam waka gujja. Alwi ali mu kyatutaano ku bubonero 234, kyokka ne bw’awangula empaka ezisembayo, tasobola kuyisa Ssebuguazi akulembedde ne 340


Ssebuguzi eyamalidde mu kyokuna, yalinnye ku ntikko n'obubonero 340, ng’addiriddwa Suzan Muwonge (yakute kyakubiri) ku bubonero 315, ate Mangat abadde akulembedde kati ali mu kyakusatu ku bubonero.

Ye Musa Kabega, enzaalwa y'e Hoima, era ng’abadde yaakawangula empaka z'e Rwanda omwezi oguwede, yamalidde mu kyakusatu .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo