TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Kiraabu ya COBAP ewangudde ekikopo ky'ebikonde

Kiraabu ya COBAP ewangudde ekikopo ky'ebikonde

By Musasi wa Bukedde

Added 11th September 2018

Kiraabu ya COBAP essukkulumye ku zinaayo 12, n'esitukira mu kikopo kya 'Rubaga Division Inter - Club Tournament'

Boxingweb 703x422

Vincent Lubega owa COBAP (ku kkono) ng'awumiza Umar Mayanja owa Malalo.

KIRAABU ya ‘COBAP Boxing Club’ emmezze endala 12 n’esitukira mu kikopo kya ‘Rubaga Division Inter-Club Boxing Tournament’

Empaka zaabadde mu jjiimu ya kiraabu eno esangibwa e Lubya mu ggombolola y'e Lubaga.

Abazannyi abaayambye COBAP okuwangula kuliko; kapiteeni Wasswa Bawa, Vincent Lubega, Ronald Gayita, abalongo David Kato ne Robert Wasswa, era bonna baawangudde ennwaana zaabwe zonna.

Lawrence Kalyango, omutendesi wa ttiimu eno wamu n’ey'eggwanga eya The Bombers, yagambye nti empaka zaabayambye okuwawula omutindo gw’abazannyi abeetegekera empaka ez’enjawulo.

Kkansala wa Lubaga mu lukiiko lwa KCCA, Abubaker Kawalya, yawadde kiraabu ezeetabye mu mpaka giravuzi  100 ezibalirirwamu 5,000,000/-, n’asaba abazannyi okuba eky’okulabirako mu bitundu byabwe nga beewala okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Kiraabu endala ezeetabye mu mpaka kuliko; Sakku, Kawaala, Malalo, Nakulabye Boxing Academy, Makerere n’endala.

 (FRED KISEKKA)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lampholders3webusenew 220x290

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza...

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

Funayo1 220x290

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze...

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko...

Wereza 220x290

‘Abakyala mukomye okwetonaatona...

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde...

Twala1 220x290

Abakyala n’abavubuka e Wakiso Gavt....

GAVUMENTI ewadde abakyala n’abavubuka ba Wakiso Town Council mu disitulikiti ya Wakiso ssente z’okwekulaakulanya...

Omukoziwekitongolengapakiraebyamaguziebitalikumutindo 220x290

 Abasuubuzi b’e Masaka beezoobye...

“Abasuubula ebintu bino mubamanyi era mmwe mubakkiriza nga babawadde enguzi bwe mumala n emwefuulira ffe abatalina...