Bya GERALD KIKULWE
Pepsi University League
K.U 0-0 SLAU
Kumi – Gulu (enkya)
Nkumba – Busitema(Lwakutaano)
MUST – KYU(Lwamukaaga)
BSU – IUIU(Ssande)
SLAU yalumbye K.U ku lwokubiri ku kisaawe kya Villa Park n’obukambwe bw’obutasuula Likodi yaabwe gye bataddewo sizoni eno nti mu mipiira 5 tebanakubwamu ekibakuumidde ku ntikko y’ekibinja era n’okufuuka ttiimu esoose okwesogga “Quarter” okuva mu kibinja B.
Davis Nnono atendeka SLAU agamba nti akabonero ka 0-0 ke baabadde baagala okuva ku ba Champiyoni ba Liigi eno emirundi ebiri,nga kati batunuulidde ngeri gye bagenda kutuuka ku Semi ate ne Fayinolo.
Akabonero kano kakasizza SLAU ku mutendera gwa “Quarter” n’obubonero 11 nga bw’erinda omulala an’ayitawo okubeegattako wakati wa K.U abalina obubonero 7,Busitema 3 ne KYU abalina akabonero kamu.
Eno ye sizoni eyo 7 nga K.U ne MUBS bagiwangudde emirundi 2 buli omu, UMU ne MUK omulundi gumu ate abalala banoonya kisooka.