TOP

Bisaso wa Proline ayagala kuwangula kya Phillip Omondi

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

OMUTENDESI wa Proline FC eya Big League Shafik Bisaso awera kuwangulira ttiimu ye kikopo kisooka nga yaakaggyeegattako bw’anaba asisinkanye Nyamityobora FC mu empaka z’okujjukira eyali omuzannyi wa Cranes Phillip Omondi.

Shafikbisaso1 703x422

Bisaso atendeka Proline FC

Bya GERALD KIKULWE

Lwakutaano mu Phillip Omondi Cup 2018

Proline FC - Nyamityobora FC

Wakiso Giants vs KCCA FC

Lwamukaaga

Proline FC vs Wakiso Giants FC

KCCA FC vs Nyamityobora FC

Proline FC abaakawangula ekikopo ekyabbulwamu eyali omuzannyi wa KCCA FC ne Uganda Cranes Phillip Omondi emyaka ebiri egyomuddiringanwa bali mu keeterekerero okulaba nga bakyeddiza omulundi ogwokusatu wansi w’omutendesi Bisaso ku lwokutaano luno mu kisaawe kya Startimes e Lugogo.

Nyamityobora FC abaakesogga Liigi ya babinywera ne Wakiso Giants FC emanyiddwa nga Kamuli Park eya Big League be bazze mu kifo kya Bright Stars FC ne Maroons FC abeetaba mu kikopo kino sizoni ewedde naye nga ku luno tebasobodde ku komawo.

Omutendesi wa Proline FC agamba nti ttiimu y’erina obusobozi okweddiza ekikopo kino era nga bwe yazze okugiwangulira ebikopo n’okugikomyawo mu “Super” agamba nti atandika na kino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima