TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abazannyi ba Spurs babiri basubiddwa ensiike ya Liverpool

Abazannyi ba Spurs babiri basubiddwa ensiike ya Liverpool

By Musasi wa Bukedde

Added 13th September 2018

Lloris yafunye obuvune mu kisambi era teyazannyidde Bufalansa.

Lloris 703x422

LLoris omukwasi wa ggoolo ya Spurs.

Omutendesi wa Spurs, Mauricio Pochettino ali mu kattu mu kiseera nga beetegekera okwambalagana ne Liverpool mu Premier ku Lwomukaaga.

Abazannyi be babiri okuli; omukwasi wa ggoolo Hugo Lloris n’omuwuwuttanyi Dele Alli, ensiike eno tebagenda kugizannya oluvannyuma lwa bombi okufuna obuvune.

Lloris yavuna obuvune mu kisambi bwe baali bawangula ManU ggoolo 3-0 mu Premier gye buvuddeko era nga teyazannyidde ggwanga lye erya Bufalansa mu mipiira gya UEFA Nations League wiikendi ewedde.

 muwuwuttanyi wa purs ele lli ngatudde wansi olwobuvune Omuwuwuttanyi wa Spurs, Dele Alli ng'atudde wansi olw'obuvune.

 

Mu ngeri y’emu, Alli yafunye obuvune mu kinywa ky’okugulu ekigenda okumulemesa n’okuzannya ogwa Inter Milan mu Champions League ku Lwokubiri.

Ng’ayogerako n’abaamawulire ku Lwokuna, Pochettino yagambye nti waakufuna abazannyi abalala abanaabasikira.

Spurs yaakutaano mu Champions League nga mu mipiira ena egyakazannyibwa, erinamu obubonero 9.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi