TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Crested Cranes ne Namibia bali butoola e South Afrika

Crested Cranes ne Namibia bali butoola e South Afrika

By Stephen Mayamba

Added 13th September 2018

Crested Cranes erinze kwambalagana ne Namibia ku Lwomukaaga mu mpaka za COSAFA Women Championship eziyindira e South Afrika

Ugandanamibiaweb 703x422

Abazannyi ba Crested Cranes mu kutendekebwa e South Afrika

Lwamukaaga mu COSAFA Women Championship

Lesotho - Mozambique, 6:00

Namibia - Uganda, ssaawa 8:00

Zambia - Cameroon, 10:30

ENKAMBI ya Crested Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi eggumidde oluvannyuma lw’abazannyi omukaaga abaasubiddwa omupiira gwa Swaziland okugyegattako.

Leero ku Lwomukaaga, Crested Cranes ettunka ne Namibia mu mpaka za COSAFA Women Championship eziyindira e South Afrika.

Mu mupiira ogwasooseewo ku Lwokusatu, Uganda yawangula Swaziland ggoolo 4-3.

Farida Bulega, omutendesi wa Crested Cranes, yagambye nti omupiira gwa Swaziland tegwabadde mwangu kuba teyabadde na bassita be mukaaga, nti naye kati omutima gumuli wamu.

Abazibizi; Shadia Nankya, Aisha Namukisa ne Grace Aluka n'abateebi Lilian Mutuuzo, Shamira Nalugya ne Juliet Nalukenge abatannaweza myaka 18, balwawo okufuna viza era tebaatambula na bannaabwe kuba baali tebalina bbaluwa zibawa lukusa okuva mu bazadde baabwe.

" Twagala buwanguzi twenyweereze ku ntikko y'ekibinja C," Bulega bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okutendekebwa ku Lwokuna.

Ttiimu 12 ze zeetabye mu mpaka zino era zaasengekeddwa mu bibinja bisatu (3).

Ttiimu essatu ezinaakuembera, zaakwegattibwako eneeba esinze okukola obulungi mu bali mu kyokubiri, zittunke ku semi.

Uganda ne Cameroon zaagenda ng'ehhenyi mu mpaka zino ezeetabwamu amawanga okuva mu maserengeta ga Afrika.

Ttiimu endala kuliko; South Afrika, Madagscar, Swaziland, Lesotho, Malawi, Namibia, Mozambique, Zambia, Zimbabwe ne Botswana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi