TOP

Aba Cricket bawera kudda na kikopo

By Silvano Kibuuka

Added 13th September 2018

Ttiimu y'eggwanga eya Cricket egenze e South Afrika ng'ewera kudda na kikopo mu mpaka za T-20 Uganda ze yeetabyemu omulundi ogusooka.

Cricketweb 703x422

Katende (ku ddyo) ng'asiibula ttiimu y'eggwanga eya Cricket

TTIIMU y’eggwanga eya Cricket Cranes ey’abasajja egenze South Afrika ng’ewera kukomawo na kikopo mu mpaka za T-20 Uganda ze yeetabyemu omulundi ogusooka.

Uganda era eyagala kweyambisa mpaka zino okuwawula abazannyi nga beetegekera empaka za ‘ICC World Cricket Division 3’, ezigenda okubeera mu Oman mu November.

Omumyuka wa ssaabawandiisi wa NCS avunaanyizibwa ku by’ekikugu, David Semakula Katende, y’akwasizza ttiimu eno bbendera y’eggwanga n’asiima aba Cricket olw'okukolanga obulungi nga bakiikiridde eggwanga.

“Aba cricket mulina omulamwa era singa buli kibiina kya mizannyo kikola nga mmwe, eggwanga lyandibadde wala,” Katende bwe yategeezezza.

Ye kapiteeni Roger Mukasa yagambye nti: “Abazannyi beetegese, era tutunuulidde kukomawo na buwanguzi”.

Abazannyi abalala abagendedde ku ttiimu ye; Brian Masaba, Hamu Kayondo, Dinesh Nakrani, Deus Muhumuza, Riyazat Shah, Henry Ssenyondo, Frank Nsubuga, Kenneth Waiswa, Fred Achelam, Charles Waiswa ne Bilal Hassun.

Amawanga ageetabye mu mpaka kuliko; Nigeria, Kenya, Zimbabwe ne Namibia.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo