TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Namasuba Juventus ewangudde eky'abato mu liigi ya Uganda

Namasuba Juventus ewangudde eky'abato mu liigi ya Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 13th September 2018

Ttiimu ya Namasuba Juventus ewangudde ekikopo kya liigi ya Buganda ey'abali wansi w'emyaka 15

Juventusweb 703x422

Ttiiimu ya Namasuba Juventus n'ekikopo

Bya DRAKE SSENTONGO

Juventus 0(3)-0(2) Bugoba

NAMASUBA Juventus yasitukidde mu kikopo kya liigi ya ligyoni ya Buganda ey'abato abali wansi w'emyaka 15. Omupiira gwabadde ku  Bishop's SS e Mukono ku Lwokusatu. Guno gwe mulundi ogusoose, Buganda okutegeka liigi y'abato eya U15.

Juventus yakubye Bugoba Soccer Academy ggoolo 3-2 eza peneti oluvannyuma lw'okugwa amaliri (0-0) mu ddakiika 90.  Liigi ebaddemu ttiimu 15 mu bibinja bibiri ebyabbulwa mu baaliko Bakatikkiro ba Buganda, Walusimbi ne Muliika.  Juventus yakulemberamu ekibinja kya Walusimbi n'obubonero 26 ate Bugoba n'ekulembera aba Muliika ku 25.

"Mweyongere okusamba omupiira ng'ate bwe musoma, temugenda kwejjusa," Ssentebe wa Buganda, Andrew Kaweesa bwe yategeezezza bamusaayimuto. 

Allan Isabirye owa New Life SA ye yasinze banne okuteeba ggoolo ennyingi (7) mu mpaka zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...