Bya GERALD KIKULWE
2018 NBL Women semi Fayinolo
JKL Lady Dolphins 88-68 A1 Challenge
Ku lwokusatu mu MTN Arena Lugogo,JKL Dolphins yeefuze enzannya ezaasoose essatu 24-17,16-10, 26-18 wabula A1 Challenge n’ezuukuka mu katundu akasembayo 23-22 naye nga tekyalina ky’etaasa era bw’etyo n’ekubwa obugoba 88-68.
Hope Akello owa JKL yalonze Libbaawundi 16 ate n’akola obugoba 17, naddirirwa Ritah Imanishimwe n’obubonero 16 ne Stella Oyella 12
Georgia Adhiambo owa A1 Challenge yagezezzaako n’abafunira obubonero 18, Stella Nikuze 16 ne Susan Amito 12.
Eno ye semi esoose wabula nga baakuzannya emirundi etaano okufunako agenda ku Fayinolo ya Basketball sizoni eno.