TOP

KIU Titans ezze City Oilers mu biwundu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2018

Ttiimu ya KIU Titans ewangudde City Oilers n'ewera nga bw'eyagala ekikopo kya basketball sizoni eno

Basketballweb 703x422

Jimmy Enabu owa City Oilers n'omupiira, mu ntabwe ya KIU

Bya GERALD KIKULWE

Mu  basketball

JKL Men 75-64 Betway Powers

KIU Titans 83-61 City Oilers

TTIIMU ya KIU Titans ezze mu biwundu bya City Oilers omulundi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa  bw’egiwuttudde obugoba 83-61 mu semi esoose mu liigi ya yunivasite. Titans beefuze ebitundu bisatu (24-13, 19-14, 25-18), ate Oilers n'ewangulako kimu (15-16).

Nga June 1 omwaka guno, KIU  yeggyako ekikwa ky’obutakuba City Oilers okumala sizoni ttaano ez’omuddiring’anwa mu nsisinkano zonna, bwe yawangula ku bugoba 72-57, n’ebaddamu nga August 3 ku bugoba 94-79 ate ku Lwokutaano n’ebaddamu nga bali ku  MTN Arena e Lugogo.

Omutendesi wa KIU, Brian Wathum agamba nti okuwandula bannantameggwa ba liigi eno emirundi etaano aba City Oilers, si kyangu nti  era afuuyirira kanwe okulaba nga mu nzannya za semi ettaano, awangulako 3 ezisooka.

Eno ye semi esoose, nga baakuzannya emirundi etaano okufunako anaakwatagana n’omuwanguzi wakati wa Betway Powers ne JKL Men.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Segawa1 220x290

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50...

OMUYIMBI Vincent Ssegawa atabuse n’omukazi gwe yakozesa yintavuyu n’asinga abalala 50 mwe yamulonda.

Abamerika bakubye Trump mu mbuga...

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi...

Wana 220x290

Muto wa Ssemwanga, abadde amansa...

BAAMUTADDE ku mpingu ne bamuggyamu n’engatto, nga toyinza kulowooza nti y’oli abadde amansa ssente mu bbaala z’omu...

Kola 220x290

Ensonga ezaaviiriddeko Muhangi...

HERBERT Muhangi eyali owa Flying Squad yabadde yaakayimbulwa ku kakalu ka kkooti, abaserikale ne baddamu ne bamuyoola...

Kwata 220x290

Bannayuganda e London bajjukidde...

OMUSUMBA wa Kasana Luweero Paul Ssemwogerere akulembeddemu Bannayuganda abali e London mu Bungereza okujaguza emyaka...