TOP
  • Home
  • Rally
  • Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda mu ddigi.

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda mu ddigi.

By Nicholas Kalyango

Added 19th September 2018

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Fortunessentamu2 703x422

Ssentamu omu kubagenda okuvuganya n'abagwira.

ABAGWIRA mukaaga okuva mu South Afrika ne Amerika bakakasizza okwetaba mpaka za ddigi eza laawundi eyoomukaaga ezigenda okubeera e Busiika nga September 30. 

Okusinziira ku maneja w’empaka zino, Evas Orlad, abavuzi bana; Ray Leybovich, Brandon Leith, Christopher Thies ne Preston Boespflug bava mu Amerika ate abooluganda; Joshua ne Jonathan Mumi b’e South Afrika.

 ay eybovich lwe yasooka okujja mu ganda ano yali usiika Ray Leybovich lwe yasooka okujja mu Uganda. Wano yali Busiika.

 

“Twagala okuwa abawagizi baffe ekigya mu ssente zaabwe ze basasula ku miryango. Bangi babadde bamanyidde okuvuganya okuli wakati wa Bannayuganda wabula bwe tukugattamu abavuzi b’ensi endala, omuwagizi afuna eky’enjawulo,” Orland bwe yagambye eggulo nga batongoza empaka zino e Lugogo.

 unnayuganda tarv rland omu ku bagenda omuvuga mu mpaka zino ngalariza ddigi mu bbanga Munnayuganda Starv Orland omu ku bagenda omuvuga mu mpaka zino ng'alariza ddigi mu bbanga.

 

Abavuzi bano batandika leero okutuuka mu ggwanga nga bagenda okukozesa ennaku ze bagenda okumala mu Uganda okuyamba mu kutendeka abamu ku Bannayuganda obukodyo bw’okubonga ddigi. Empaka zino, zigenda kuyamba abavuzi okukung’aanya obubonero ku ngule z’eggwanga ez’enjawulo era nga zaakulagibwa layivu ku Urban TV eri wansi wa Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu