TOP
  • Home
  • Ebirala
  • KIU eri ku ssaala mu liigi ya basketball

KIU eri ku ssaala mu liigi ya basketball

By Musasi wa Bukedde

Added 20th September 2018

KIU yaakawangula omupiira gumu kw'esatu gye baakazannya. Balina kuzannya etaano awangula emingi y'agenda ku fayinolo.

Baco 703x422

Jimmy Enabu owa City Oilers n'omupiira mu ntabwe ya KIU.

Bya Gerald Kikulwe

Mu Semi za Basketball

KIU TITANS - CITY OILERS (omugatte 1-2)

Omutendesi wa KIU Titans, Brian Wathum ali ku ssaala okulaba nga ttiimu ye edda engulu mu luzannya lwa Semi olwokuna mu Basketball oluvannyuma lw’okukubwa bbiri ez’omuddiring’anwa.

KIU yawangula Semi eyasooka ku bugoba 83-61, wabula City Oilers yadda n’obusungu ku Semi eyookubiri n’eyookusatu ne beesasuza ku bugoba 76-69 ne 73-67, nga singa ewangula ensisinkano y’enkya (Lwakutaano) ejja kuba eyiseewo okuzannya fayinolo yaayo ey’omulundi ogwomukaaga ogw’omuddiring’anwa.

Brian Wathum, atendeka KIU agamba nti tagenda kukkiriza kukubwa mulundi gwakusatu era ng’alina okukkiriza nti ku lw’obuyinza bwa Mukama obuwanguzi bumuli mu ttaano ttiimu ye okukomawo mu kibalo.

“City Oilers ttiimu ya maanyi era siginyooma naye naffe tuli ba maanyi era tuli bamalirivu nti Katonda leero ali ku ludda lwaffe okufuna obuwanguzi kuba bwe tulemererwa tuba tuwedde,” Wathum bwe yategeezezza.

City Oilers be balina ekikopo ky’omwaka oguwedde era nga baakakiwangula emirundi 5 egy’omuddiring’anwa ate nga KIU enoonya kisooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...