TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves tebaguliimu

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves tebaguliimu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st September 2018

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Herreranerojo1 703x422

Herrera ne Rojo

JOSE Mourinho, atendeka ManU akakasizza abazannyi 4, abategenda kuzannya nga bakyazizza Wolves mu Premier enkya ku Lwomukaaga.


Mourinho agamba nti Marcos Rojo, Marcus Rashford, Nemanja Matic ne Ander Herrera ensiike eno tebagiriimu.


Rojo, yava mu mpaka za World Cup ng'alinamu obuvune mu vviivi era ttiimu eno tannagizannyirayo mupiira gwonna mu Premier. Ye Herrera, akyatawaanyizibwa obuvune mu kakongovvule era abasawo bakyamwetegereza oba ateredde bulungi okuzannya omupiira.


Kuno kwossa Rashford ne  Matic nabo abalina obuvune kyokka okudda kwa Phil Jones kuzzizzaamu enkambi ya ManU amaanyi amaanyi.


Wabula Mourinho agamba nti abazannyi abalala, baakumuyamba okufuna obuwanguzi wadde ng'abadde n'ennaku bbiri ez'okutendekebwa oluvannyuma lw'okuzannya Young Boys wakati mu wiiki mu mpaka za Champions League.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...