TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Uganda ekoze likodi ng'ewangula eza World University Netball Championship

Uganda ekoze likodi ng'ewangula eza World University Netball Championship

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2018

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira ku Yunivasite e Makerere n’eteekawo Likodi y’ensi esoose okutegeka empaka zino bukya zitandika mu 2014 ate n’eziwangula nga tebubiddwaamu.

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 703x422

Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ng'akwasa Uganda ekikopo

Bya GERALD KIKULWE

Fayinolo ya World University Netball

Uganda 44-43 South Africa

Uganda yatuuse ku Fayinolo ne South Africa gye baabadde benkanya nayo obubonero 11 mu nsiike 6 buli omu ze yazannye wabula nga South Africa esinzaako obugoba 35 naye kino tekyalobedde Uganda kuwangula Fayinolo n’obubonero 44-43 mu muzannyo ogw’abaddemu okuluma obugigi, obunkenke n’okusaba Katonda mu buli lulimi.

Empaka zino zaatandika ku Mmande nga zeetabwamu amawanga 7 oluvannyuma lwa Namibia okuzivaamu ku ssaawa esembayo olwo, USA, Kenya, Sri Lanka, Zimbabwe, Singapore abaakutte eky’okusatu, South Africa ab’amalidde mu kyokubiri ne Uganda abategesi era ba Champiyoni be b’amazzeeko.

Imelda Nyongesa omutendesi  wa Uganda obuwanguzi yabutadde ku kukolera awamu abazannyi kwe baayolesezza  mu mpaka zino okuva we zaatandika wabula ne yeemulugunyamu ku ngeri ba ddifiri b’empaka zino gye babadde basalirizaamu Uganda naddala bwe yabadde ezannya ttiimu enene nga Singapore ne South Africa.

“Ttiimu ebadde n’obumu ku kisaawe ate n’omutima gw’okufiirawo okufuna obuwanguzi ekisobodde okutuwanguza ekikopo ekisoose okuva 2014 nga newankubadde baddifiri babadde balina kyekubira,” Nyonges bwe yategeezezza.

Bungereza y’eyasooka okuwangula ekikopo kino mu 2014 ekyali e South Africa, South Africa n’ekitwala mu 2016 e Miyami ate Uganda y’ensi esoose okutegeka empka zino n’etwala n’ekikopo 2018.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu