EBINTU bitabukidde omutendesi wa ManU, Jose Mourinho, bw’alemeddwa okufuna obuwanguzi ku Old Trafford mu mupiira gwa Premier oguzannyiddwa ku Lwomukaaga.
ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier.
Omupiira guno, gulabiddwa n’eyali omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ng’ono lw’asoose okubeera ku mipiira gya ManU oluvannyuma lw’okulongoosebwa obwongo mu May w’omwaka guno.
Mourinho agamba nti teri bazannyi bamuyiyeeyo mu mupiira guno nga bateebi abasubiddwa emikisa entoko egyandivuddemu ggoolo.
Alexis Sanchez, eyawummuzibwa mu makkati ga wiiki nga ManU ezannya Young Boys mu Champions League, yaggyiddwaayo mu ddakiika ya 63 nga talina ky’akoledde ttiimu wabula ne Romelu Lukaku n’asubwa emikisa egyandivuddemu ggoolo.
“Abateebi omulimu gwabwe gwabalemye okukola era akabonero, Wolves ebadde ekasaana kyokka kinnume nti wiini etulemye okufuna mu maaso ga Fergie,” Mourinho bwe yategeezezza.
Ggoolo ya ManU yateebeddwa Fred mu ddakiika eya 18 ate eya Wolves n’eteebwa Joao Moutinho mu ddakiika eya 53.