FUFA Super Cup
Vipers (2) 0-0 (4) KCCA
OMUTENDESI wa KCCA FC, Mike Mutebi agambye nti omutindo ttiimu ye gwe yayolesezza nga bawangula Vipers ku Lwomukaaga, gumuwadde essuubi nti sizoni eno bagenda kukukumba ebikopo bya Uganda byonna.
KCCA, yakubye Vipers ggoolo 4-2 eza peneti oluvannyuma lw'eddakiika 90 okuggwaako 0-0 mu mupiira ogwanyumidde mu kisaawe e Wankulukuku. Omupiira guno, KCCA yatuuzizza bassita baayo mukaaga abali mu ttiimu etandika ate Vipers n’eyungula abasuubirwa okutandikanga emipiira gya liigi n’empaka endala kyokka KCCA n’ebawangula.
KCCA yatuuzizza; Muzamir Mutyaba, Saddam Juma, Timothy Awany, Gift Ali, Jackson Nunda ne Patrick Kaddu ababeera mu ttiimu etandika n’ezannyisa Herbert Achai, Sadat Anaku, Mike Mutyaba Lawrence Bukenya ne Musa Esenu.
“Omupiira guno gumpadde ekifaananyi kya ttiimu yange bw'egenda okuzannya mu liigi era ngirabye esobola okuwangula ebikopo,” Mutebi bwe yategeezezza.
Yo Vipers y’omuzungu Javier Martinez Espinosa yasinzeemu bazannyi bapya okwabadde Livingstone Mulundo, Fabien Mutombora, Noah Wafula, Dickens Okwir, Rahmat Senfuka, Brian Kalumba, Davis Kasirye, Fred Okot, Derrick Ochan, Tito Okello sso ng'abakadde kwabaddeko Taddeo Lwanga, Bashir Asiku, Godfrey Wasswa, Aggrey Madoi, Moses Waiswa, Frank Tumwesige ‘Zaga’ ne Dan ‘Muzeey’ Sserunkuuma.
Liigi ya babinywera esuubirwa okutandika ku Lwokutaano nga September 28.