Bya HUSSEIN BUKENYA
Lwakutaano mu liigi
Kirinya Jinja - SC Villa, Jinja SS
Vipers - Ndejje Univ, Kitende
KCCA FC - Soana, Lugogo
URA - Paidha Black Angels,
Onduparaka - Nyamityobora, Arua
Mbarara City - Express
Bright Stars - Maroons, Mwererwe
Lwamukaaga
Police - BUL FC e Lugogo
KU Lwokutaano nga September 28, liigi y'eggwanag eya 'Star- Times Uganda Premier League lw'eggulwawo mu butongole.
Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira
eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni ewedde aba Vipers ne bannantameggwa ba Uganda Cup (KCCA) bonna batandikira ku butaka.
Vipers mu St Marys' Stadium yaakuggulawo ne Ndejje University abagole mu liigi eno, ate KCCA eyambalagane ne Soana (kati eyitibwa Tooro United) mu StarTimes Stadium e Lugogo.
Express abaawonera akatono okusalwako sizoni ewedde, baakutandikira ku bugenyi nga bakyalidde Mbarara City ate URA emaze emyaka omusanvu ng'ekikonga lusu, egenda kubeera Namboole mu maka gaayo nga bakyazizza Paidha Black Angels okuva e Zombo.
SC Villa eyamalira mu kyokusatu sizoni ewedde, egenda wa Kirinja Jinja SS ku kisaawe
ky’essomero lino. Oluvannyuma lw’emipiira gino, enkeera ku Lwomukaaga waliyo
omupiira gumu gwokka e Lugogo, Police bw'eneeba ekyazizza BIDCO.
ABATALINA BISAAWE BALABUDDWA
Ttiimu ssatu; Nyamityobora, Mbarara City ne BUL FC tezinnafuna bisaawe mwe zikyaliza, Bainamani azirabudde obuteesunga nnyo nsengeka eno okutuuka nga zituukirizza akakwakkulizo kano.
Bano baweereddwa lwa leero (Lwakubiri September 25) okufuna ekisaawe nga bwe ziremererwa zigenda kugobwa mu liigi.
" Ssinga Olwokubiri luziba nga ttiimu zino tezifunye bisaawe ebituukana na mutindo, zaakugobwa," Bainamani bwe yategeezezza.
Mu ngeri y'emu, siponsa wa liigi wamu ne kiraabu za 'super' bakkaanyizza nti buli ttiimu ya liigi, yaakufuna obukadde 70 sizoni yonna. Wabula ttabamiruka ono eyatudde ku Lwomukaaga, yalemereddwa okulonda olukiiko oluggya.