TOP

Cahill akooye bbenci

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2018

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier.

Chelseacahill 703x422

cahill

GARY Cahill, 32, ayolekedde okusiibula Chelsea oluvannyuma lw'okubulwa ennamba etandika mu ttiimu eno wansi w'omutendesi Maurizio Sarri.


Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okumugula kyokka ng'eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu ttiimu ya Premier. Wakati nga tennatereera, ManU y'eyinza okumulowoozaako wabula ku myaka 32,akuliridde.


Sizoni eno, Cahilla tannatandikayo mupiira gwonna ku egyo 6 egyakazannyibwako mu Premier ng'omukisa gwe yafunye wiikendi ewedde, yayingiziddwa mu ddakiika ya 21 bwe baabadde bagwa amaliri ne West Ham.


Sarri, asinga kukozesa David Luiz  kyokka nga Andreas Christensen, y'asooka okulowoolezebwako singa kooci anoonya omuzannyi ow'okuyingiza.
Cahill, yaakawangula ebikopo 6 ne Chelsea kyokka era ye kapiteeni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte