TOP

Bright Stars eyiiseemu mmotoka

By Moses Kigongo

Added 26th September 2018

Bright Stars eweereddwa mmotoka etambuza ttiimu, n'ewaga nga bwegenda okubongera amaanyi agafuna obuwanguzi

Bbweb 703x422

Dayirekita wa kkampuni ya Yoshin, Taiki Yamaguchi (owookubiri ku ddyo) ng'akwasa ssentebe wa Bright Stars, Ronald Mutebi ebisumuluzo bya mmotoka. Wakati waabwe ye Kameda Kazuaki. Abalala abaabaddewo ye Henry Kikonyogo (ku ddyo), Fred Kajoba ne Ssenkatuuka (ku kkono)

ENKAMBI ya ttiimu ya Bright Stars yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw’okufuna mmotoka egenda okubatambuza ku mipiira egy’enjawulo sizoni eno.

Emmotoka eno yaguliddwa kkampuni ya Yoshino, emu ku zigenda okubateekamu ssente sizoni eno era ng’omukolo gw’okugibakwasa gwakulembeddwa omubaka wa Japan mu Uganda, Kameda Kazuaki, ku kitebe kya kkampuni eno e  Nakawa.

“Tuli basanyufu olw’okufuna emmotoka y’obwannannyini, era kigenda kutwongera amaanyi agalwanirira obuwanguzi obwenjawulo mu liigi”, kapiteeni wa Bright Stars, Nelson Ssenkatuuka bwe yategeezezza.

Emmotoka eyaweeredwa Bright Stars ya kika kya Coaster Ross, nnamba UAZ 6690B ng’etuuza abantu 32.

Bright Stars eggulawo ne  Maroons FC ku Lwokutaano e Mwerwerwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.