TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Bamusaayimuto bagenze kukiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics

Bamusaayimuto bagenze kukiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics

By Silvano Kibuuka

Added 4th October 2018

Bamusaayimuto bagenze mu mizannyo gya Summer Youth Olympics mu Argentina nga bawera kukomawo na midaali

Youthteamweb 703x422

Hamdan Lutaaya (ku kkono), Ester Yego Chekwemoi, Sarah Chelengat, Grace Ndagire ne Oscar Chelimo, abagenze mu mizannyo gya Youth Olympics mu Argentina

BAMUSAAYIMUTO bataano baweze okukomawo n’emidaali mu mizannyo gy’abali wansi w’emyaka 20 ‘ Summer Youth Olympics’,  egitandika ku Lwomukaaga (October 6) mu kibuga Buenos Aires ekya Argentina.

Bano baasiibuddwa omumyuka wa ssaabawandiisi wa NCS, Dr. Patrick Benard Ogwel eyabakwasizza bendera y’eggwanga n’abakuutira okugikuumira waggulu.

Omusituzi w’obuzito Hamdan Lutaaya, ategeezezza nti alina essuubi nti omutindo gw’aliko gugenda kumusobozesa okuwangula omudaali kimuteeke ku mwanjo okwetaba mu mizannyo gya Olympics e Japan mu  2020.

Ye omuvuzi w’amaato, Grace Ndagire agambye nti abadde abangulwa ku maato amazungu era obukodyo bwonna agenda kubussa mu nkola.

Abaddusi kuliko; Ester Yego Chekwemoi, Sarah Chelangat  ne Oscar Chelimo.

Emizannyo gikomekkerezebwa nga October 18.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup