TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Henry asemberedde okulya ogw'obutendesi bwa Aston Villa

Henry asemberedde okulya ogw'obutendesi bwa Aston Villa

By Musasi wa Bukedde

Added 7th October 2018

Luis Faria ne Terry eyaliko mu Chelsea nabo balowoozebwako.

Henry 703x422

Henry, yayogeddeko n'abakungu ba Aston Villa gye buvuddeko.

EYALI omuteebi wa Arsenal ne Bufalansa, Thierry Henry ali ku ndeboolebo ya kulangiririrwa ng’omutendesi wa Aston Villa omuggya ng’asikira Steve Bruce.

Henry, abadde akola ng’omumyuka w’omutendesi ku ttiimu ya Belgium, yayogeddeko n’abakungu ba Aston Villa era kigambibwa nti balina we baatuuse ku by’okumuwa omulimu.

Nnannyini ttiimu eno, Nassef Sawaris agambibwa okuba ng’amatira Henry era kino kimu ku biyinza okumuweesa omulimu.

Ensonda mu Aston Villa zaategeezezza nti omutendesi anaasikira Bruce, waakulangirirwa obutasukka nnaku October 20.

Aston Villa ya 15 ku bubonero 15 okuva mu mipiira 12 mu liigi ya Championship nga ku wiikendi, yakubiddwa Milwall ggoolo 2-1.

Ensonda zaategeezezza nti waliwo abatendesi abalala abakyalowoozebwako okuli; Luis Faria eyali omumyuka wa Jose Mourinho mu Chelsea ne ManU ssaako John Terry eyabadde kapiteeni waabwe sizoni ewedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...