TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Hamilton yandirangirirwa ku bwakyampiyoni mu mpaka eziddako

Hamilton yandirangirirwa ku bwakyampiyoni mu mpaka eziddako

By Musasi wa Bukedde

Added 7th October 2018

Vettel ali mu kyokubiri yatomereganye ne Vasterppen mu zibadde e Japan

Hami 703x422

Hamilton ng'ajaganya olw'okuwangula empaka ezimu gye buvuddeko.

Lewis Hamilton yandirangirirwa ku bwakyampiyoni bw’engule y’obumotoka bwa Formula One mu mpaka ezinaabeera mu Amerika eza US Grand Prix singa aziwangula ate Sebastian Vettel bwe battunka ku ngule, n’amalira mu kyokusatu oba wansi waakyo.

Hamilton awangudde empaka ezibadde mu Japan eza Japanese Grand Prix n’ayongera okwenywereza ku ntikko n’obubonero 356 nga kati asinga Vettel ali mu kyokubiri obubonero 67.

Kitegeeza nti singa Hamilton awangulira mu amerika, Vettel n’akwata ekyokuna, tewali muvuzi ajja kuba asobola kumusuuza ngule mu mpaka ezibulayo z’emirundi esatu ezinaaba zibulayo.

Vettel, yamalidde mu kyamukaaga e Japan kyokka nga yabadde n’omukisa okukwata ekifo ky’oku mwanjo singa teyatomereganye ne Max Verstappen mu laawundi eyoomunaana.

 Valtteri Bottas yakutte kyakubiri, Verstappen kyakusatu, Daniel Ricciardo kyakuna, Kimi  Raikkonen kyakutaano, Vettel kyamukaaga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup