TOP

City Oilers ezze engulu mu basketball

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2018

Ttiimu ya City Oilers etangaazizza emikisa gy'okweddiza ekikopo kya liigi ya basketball

Bbweb2 703x422

Jonathan Egau owa City Oilers (ku kkono) ng'attunka ne Kojo Micabacu owa Betway Powers

 

Mu basketball

City Oilers 77-68 Betway Power

TTIIMU ya Betway Powers ebintu bigikyukidde mu fayinolo za basketball. Yawangula ensiike eyasooka, kyokka kati baakagikuba bbiri ez’omuddiring’anwa.

Betway Powers yatandika na buwanguzi bwe yakuba City Oilers ku bugoba 85-66, wabula obuwanguzi buno bulinga obwagisera,  City Oilers bwe yagiwangula 78-71 mu nsiike eyookubiri ne 77-68 mu yazannyiddwa ku Ssande

Kyokka Arnold Lando, omutendesi wa Betway Powers agamba nti akyali mugumu nti ensiike 4 ezisigadde asobola okudda engulu wabula mweraliikirivu olwa ffoomu y’abazannyi be okusereba.

“Omutindo gw’abazannyi bange gukendeddemu naye nga tulwana okulaba nga tudda engulu mu nsiike ezisigaddeyo,” Lando bwe yategeezezza.

Ku Ssande, James Okello ye yasinze okukolera Oilers obugoba 15 ate Joseph Ikong yakoledde Powers obugoba 17.

Ababiri bano baakawangula ekikopo kino emirundi etaano.

Okusalawo akiwangula, baakuzannya fayinolo musanvu, era anasainga okukung’aanya obubonero obungi y’ajja okuwangula.

Baddamu ku Lwakusatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA