TOP

Desabre yeggyeeko abatamugasa mu Cranes

By Hussein Bukenya

Added 9th October 2018

ABAZANNYI ba Cranes 8 abazannyira mu liigi y’awaka, omutendesi Sebastien Desabre yabalagidde okwamuka enkambi baddeyo mu ttiimu zaabwe bongere okulinnyisa omutindo olwo lw’ajja okuddamu okubalowozaako ku mipiira emirala.

Desabre1 703x422

Desabre (ku ddyo) n'omumyuka we Matia Lule nga balina bye beetegereza.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Lwamukaaga mu za Afrika

Cranes - Lesotho, 10:00 e Namboole

Ebisale; 15,000/-, 40,000/- ne 150,000/-

ABAZANNYI ba Cranes 8 abazannyira mu liigi y’awaka, omutendesi Sebastien Desabre yabalagidde okwamuka enkambi baddeyo mu ttiimu zaabwe bongere okulinnyisa omutindo olwo lw’ajja okuddamu okubalowozaako ku mipiira emirala.

Desabre yasazeeko abazannyi okuli; Mustafa Kizza, Nicholas Sebwato, Ambrose Kirya, Mustafa Mujuzi, Bashir Asiku ne Allan Okello (owa KCCA) ssaako Bernard Muwanga ne Julius Poloto abaabadde n’obuvune.

Cranes yeetegekera kuzannya Lesotho mu mipiira ebiri egiddiring’ana mu z’okusunsulamu abalyetaba mu mpaka za Afrika omwaka ogujja e Cameroon.

Omupiira ogusooka gwakubeerawo nga October 13 (Lwamukaaga luno) e Namboole ate badding’ane oluvannyuma lw’ennaku ssatu (October 16) mu kibuga Maseru ekya Lesotho.

Abazannyi b’awaka, kati basigadde 9 mu nkambi okuli; Charles Lukwago, Isaac Isinde, Timothy Awanyi, Allan Kyambadde, Saddam Juma, Taddeo Lwanga, Moses Waiswa, Patrick Kaddu ne Nelson Senkatuuka nga ku bano kwe kwegasse bapulo 16.

Agava mu nkambi gagamba nti ku mulundi guno Desabre abazannyi b’awaka agenda kubawa omukisa ogutandika omupiira oluvannyuma lwa Moses Waiswa okukola obulungi ku gwa Tanzania bwe yaweebwa omukisa.

BAPULO BATUUSE

Ku Ssande, Dennis Guma, Joseph Ochaya ne Nicholas Wadada beeyanjudde mu kutendekebwa ate eggulo (Mmande), Emma Okwi ne Murushid Juuko be baabadde basuubirwa.

Godfrey Walusimbi, Salim Jamal, Derrick Nsibambi, Allan Kateregga ne Milton Karisa basuubirwa okutuuka mu nkambi leero.

LWAKI CRANES EKYUSIZZA ENKAMBI

Nga Cranes yeetegekera okuttunka ne Tanzania, enkambi baagikuba ku Joka’s Hotel e Bweyogerere, era Desabre yajuliza nti kumpi ne Namboole nga kijja kwanguyira abazannyi okutuukayo, ate beewale n'okukooyera mu jaamu.

Ku Mmande, Cranes yayingidde enkambi ku Kabira Country Club e Bukoto, era kigambibwa nti Dasabre yakizudde nti ku Joka’s abazannyi baali tebawummula bulungi olw’amasanyu agaliwo.

Kigambibwa nti ku Kabira wasirifu nnyo ekigenda okuwa abazannyi okulowooza obulungi ku mupiira sso nga waliyo n’akasaawe we bayinza okubugumiramu ssinga babaako obukodyo Dasabre bwe yeetaaga okubawa nga bali bokka.

KADDU ASABYE ETANDIKA

Oluvannyuma lw'okuteeba ggoolo bbiri nga Cranes ewangula ttiimu ya U23 (4-1) ku Ssande, omuteebi wa KCCA, Patrick Kaddu asabye Dasabre amutandise ng'agamba nti omutindo gwe gulinnye nnyo okuva ku gwe yayolesa ku Tanzania.

Kaddu agamba nti okumutandisa ku katebe ku Tanzania kyamuluma era bwe yaddayo n’akola buli kyetaagisa okumatiza omutendesi era kati bw'aba ayagala ggoolo amulowozeeko kuba ebyamulemesa ku Tanzania byonna yabitereezezza.

Abaasigadde mu Cranes;

D. Onyango, J. Salim, C. Lukwago, M. Juuko, I. Isinde, T. Awanyi, D Guma, N. Wadada, G. Walusimbi, I. Muleme, J. Ochaya, H. Wasswa, I. Saddam, T. Lwanga, M. Waisswa, K. Aucho, A. Kateregga, F. Miya, E. Okwi, E. Lubega, D. Nsibambi, M. Karisa, A. Kyambadde ne P. Kaddu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...