TOP

Bawangudde Ssemuko Cup'

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2018

TTIIMU y'awaka bagitutteko ekikopo n'esigala ng'efeesa lwa bazannyi kuzannyira mu mikisa.

Semuko1 703x422

Ssemuko (ku kkono) ne Kiyaga amuddiridde nga bakwasa aba Amazon FC

Bya JOSEPH ZZIWA
 
TTIIMU y'awaka bagitutteko ekikopo n'esigala ng'efeesa lwa bazannyi kuzannyira mu mikisa.
 
Zaabadde fayinolo za Ssemuko Cup ku kisaawe e Masajja wakati wa Juba Boys FC (ey'oku kyalo) ne Amazon FC ey'e Namasuba.
 
Juba Boys ye yasinze okufuna emikisa kyokka ne balemwa okuteeba, okukkakkana nga John Bosco Ssesaazi ateebye ggoolo eyawadde Amazon FC obuwanguzi.
 
Empaka zino za byalo ebiri mu Masajja nga zitegekebwa buli mwaka, era zivujjirirwa Kennedy Ssemuko, kkansala w'omuluka gwa Kikajjo.
 
Ssemuko yeebazizza ttiimu zonna ezeetabye mu mpaka n'asuubiza nti omwaka ogujja
agenda kutandikawo ez'okubaka.
 
Ssentebe w'eggombolola y'e Masajja, John Baptist Kiyaga yeebazizza Ssemuko olw'okugatta abatuuze ng'ayita mu mizannyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.