TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Rugby Cranes eyagala kweddiza kya Afrika

Rugby Cranes eyagala kweddiza kya Afrika

By Silvano Kibuuka

Added 9th October 2018

Ttiimu ya Rugby Cranes ey'abazannyi omusanvu egenze mu Tunisia okulwanirira ekikopo kya Afrika

Rugbysevensofftotunisiaoct8bukeddepaper2 703x422

Zubair Galiwango owa NCS ne Bernard Ogwel nga bakwasa ttiimu y'eggwanga eya Rugby Cranes bendera okugenda mu Tunisia okwetaba mu mpaka za Afrika.

Ttiimu ya Rugby Cranes ey’abazannyi omusanvu  yasitudde okugenda mu Tunisia okusindana mu mpaka za Afrika n’ekigendererwa ky’okweddiza ekikopo omulundi ogwokubiri.

Abazannyi 12 n’abakulembeze basatu be bakwasiddwa bendera y’eggwanga ku kitebe ky’akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga aka NCS, ng’omukolo gwakoleddwa Zubair Galiwango avunaanyizibwa ku by’ekikugu ne Dr. Patrick Bernard Ogwel, akola nga ssaabawandiisi.

“Eggwanga lyagala buwanguzi era mudde n’ekikopo, ate temubulirayo nga abeebikonde bwe baakola”, Galiwango bwe yabakuutidde.

Uganda eri mu kibinja B  ne Senegal ne Ghana ng’amawanga 12 ge gagenda okuvuganya mu mpaka zino wakati wa October 13-14.

Ye kapiteeni Michael Okorach ategeezezza nti bamaze mu nkambi wiiki bbiri nga beetegekera empaka zino, era tebagenda kuyiwa Bannayuganda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako