TOP

KIU Titans emalidde mu kyakusatu

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2018

OLUVANNYUMA lwa KIU Titans okuwandulwamu City Oilers ku mutendera gwa Semi mu Liigi ya Basketball, ekiruyi ekimalidde ku JKL Dolphins n’emalira mu kyokusatu sizoni eno.

Tituns 703x422

Bya GERALD KIKULWE 

KCCA 82-54 A1(abakyala) Men: KIU 82-72 JKL (Abaami)

Sizoni ewedde KIU baawandukira ku Fayinolo City Oilers bwe yabakuba wiini 4-0, ne sizoni eno babadda mu biwundu wabula nabo baafunvubidde ne beefunza ekifo ekyokusatu bwe baakubye JKL Dolphins obugoba 82-72 mu MTN Arena.   

Denis Balungu yeefuze omuzannyo bwe yakoledde KIU obugoba 38 n’alonda libawundi 13 wabula ne Jonathan Obukunyang yasobodde okufunira JKL obugoba 19. 

Ate mu bakyala KCCA yayisizza bubi A1 Challenge ku bugoba 82-54 n’emalira mu kyokusatu oluvannyuma lwa UCU Lady Canons okubalemesa Fayinolo ku wiini 3-0 wiiki ewedde. 

Joy Chemutai yakoledde KCCA obugoba 20, Martha Soigi 16,Sylvia Nakazibwe 10 ate Stella Nikuze yalwanye n’afunira A1 Challenge obugoba 13,Charline Ursula ne Priscilla Sheila 8 buli omu 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA