TOP
  • Home
  • Mupiira
  • FUFA etongozza omujoozi wa Cranes omuggya

FUFA etongozza omujoozi wa Cranes omuggya

By Silvano Kibuuka

Added 10th October 2018

Abazannyi ba Cranes basanyukidde omujoozi omuggya ogutongozeddwa wabula ne bategeeza nti okwambala si kye kikulu wabula okuwangula emipiira.

Cranestrainingoct102018newjersey5 703x422

“Omujoozi mulungi naye tegugenda kutujja ku mulamwa kuwangula mipiiira tusobole okuyitamu okugenda mu AFCON”, kapiteni wa Cranes Denis Onyango bw’ategeezezza nga beegeza mu mijoozi gino e Namboole.

Kapiteeni wa Crested Cranes, Tracy Akiror Johnes agambye nti wadde nga bafunye omujoozi omuggya, tebasobola kwerabira birungi bye bafunidde mu kukadde era bagusubiddwa.

FUFA etongozza omujoozi omuggya mu ttiimu z’eggwanga zonna nga gusabuuliluddwa leero mu kutendekebwa kwa Cranes e Namboole.

Pulezidenti wa FUFA Ying Moses Magogo ategeezezza nti omujoozi omuggya bagutaddemu bbendera y’eggwanga mu kifuba nga ttiimu ya Cranes ne Crested Cranes zirina langi ssatu.

Omumyufu gwaawaka, omweru gwa ku bugenyi ate ogwa kyenvu gwa kwekuumisa.

FUFA era ekyusizza kkampuni badde eyambaza Cranes okumala ebbanga ddene eya UREA n’egisikiza MAFRO ekoze emijoozi gino.

“Zombi tekuli etutaddemu nsimbi wabula enkolagana ebadde mu kutusalira ku miwendo,” Ying Magogo bw’ategeezezza.

Agambye nti abantu basaanye okweyunira omujoozi omuggya okwongera okulaga obuwagizi bwabwe eri Cranes.

Wabula alabudde nti abantu ba ssekinnoomu ababadde batunda emijoozi emikolerere baakukigwako kubanga bataddewo kkampuni ya bannamateeka egenda okulondoola ensonga eno era anaakwatibwa waakuvunaanibwa.

“Abaagala okutunda emijoozi gya Cranes basaanye okukolagana ne FUFA okugifuna mu makubo amatuufu”, Ying Magogo bw’ategeezza wabula nga tebanaba kuteekawo bbeeyi ku mijoozi emiggya.

Alangiridde n’omukozi wa dizayini eyawangudde ku dizayini y’emijoozi gya Cranes Umar Mukasa ng’aweereddwa ensimbi 2,500,000/= n’okulaba emipiira gya Cranes gyoona awaka ku bwereere.

Emijoozi emiggya gitandika okuzannyirwamu ku mupiira gwa Lesotho ku Lwomukaaga e Namboole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana