TOP

Juventus eswamye Ramsey

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

Endagaano ya Ramsey mu Arsenal eggwaako sizoni eno kyokka gye baali bateeseteese okumwongera baagiyimiriza.

Ramsey 703x422

BAKYAMPIYONI ba Yitale aba Juventus, baswamye omuwuwuttanyi wa Arsenal, Aaron Ramsey.


Endagaano ya Ramsey mu Arsenal eggwaako sizoni eno kyokka gye baali bateeseteese okumwongera baagiyimiriza ekitegeeza nti singa sizoni eno eggwaako, yandigendera ku bwereere.


Juventus, eyaakawangula ebikopo bya liigi ya Yitale 6 eby’omuddiring’ana, ereese ddiiru egule Ramsey mu January w’omwaka ogujja nga sizoni tennaggwaako aleme kusala Arsenal.


Bagamba nti beetegefu okusasula ensimbi ng’endagaano ye tennaggwaako, bamwetwalire azannye bulungi ne Cristaino Ronaldo mu kuyiggira Juventus ggoolo.


Omutendesi Massimiliano Allegri y’asinga okumatira omuzannyi ono wadde nga Liverpool ne Chelsea, nazo zaamwegezaamu dda okumugula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...