TOP

Mourinho yeefukuludde ku Sanchez

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

Wiiki 2 eziyise, Mourinho ne Sanchez babadde tebakwatagana era Mourinho n'ategeeza nga bw'ajja okukuba Sanchez akatebe we kinaaba kyetaagisiza.

Manusanchez 703x422

Sanchez

JOSE Mourinho atendeka ManU yeefukuludde ku muzannyi we Alexis Sanchez, n'ategeeza nga bw'agenda okumuwa obuvunaanyizibwa obulala, ManU edde ku ntikko.


Wiiki ebbiri eziyise, Mourinho ne Sanchez babadde tebakwatagana era Mourinho n'ategeeza nga bw'ajja okukuba Sanchez akatebe wonna we kinaaba kyetaagisiza.


Nga ManU ezannya West Ham, Sanchez ne ku bbenci teyaliiko wabula ku mupiira gwa Newcastle, yamussa ku bbenci n'ayingizibwa mu ddakiika ya 67 kyokka ye yateeba ggoolo eyawa ManU obuwanguzi nga bava emabega wa Newcastle okuwangula ne ggoolo 3-2. Wadde nga Sanchez atera kuzannya ku wingi awasemba, wano yamuteekamu ng'omuteebi owookubiri era ggoolo n'agiteeba.


Mourinho agamba nti ate kati agenda kumuwa n'ennamba mwe yeegazanyiza obulungi, asobole okugasa bulungi ManU. Mourinho agamba nti waakumuteeka mu kifo eky'owakati olwo Romelu Lukaku yeegazaanye oba sinnakindi, olumu nga Lukaku amutuuza olwo Sanchez n'azannya ng'omuteebi omujjuvu.


Wano Mourinho alinga alidde ebigambo bye kuba yasooka n'ategeeza nga Sanchez bw'agaanyi okummuka era waakumukubanga bbenci kyokka bwe yateebye ggoolo ku gwa Newcastle, n'alaba ng'alina okumuwa ennamba, ManU bw'eba yaakudda engulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...

Baka 220x290

Emmotoka ezikwamidde ku mwalo e...

MMOTOKA za Bannayuganda ezigwa mu ttuluba ly’ezo ezaawerebwa obutaddamu kuyingira mu ggwanga eziri ku mwalo gw’e...