TOP

City Oilers ewunya kikopo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

City Oilers ewangudde Betway Powers mu basketball n'ewera nga bwe watakyali ayinza kugiremsa kikopo kya mwaka guno

Bbweb 703x422

Brian Sinachi owa Betway Powers (ku kkono)ng'ayita ku Tonny Drileba owa City Oilers

Bya GERALD KIKULWE

BANNANTAMEGGWA ba liigi ya basketball aba City Oilers, bawangudde Betway Powers ne basemberera okweddiza ekikopo kino omulundi ogw’omukaaga ogw'omuddiring'anwa.

Ku Lwokusatu, City Oilers yawangulidde ku bugoba 83-72, n’ewaza obuwanguzi  obw’omulundi ogw’okusatu ku  nsiike za fayinolo ennya ze baakazannya.

Omugatte balina kuzannya ensiike za fayinolo musanvu, kyokka omu bw’awangula ensiike ennyingi, ng’ezisigaddewo omulala ne bw’aziwangula zonna tezimuyamba, tebazimalayo.

Kino kye kiruubirirwa kya City Oilers, eyagala okuwangula ensiike eyookutaano  ku Ssande, erangirirwe ku buwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yawe 220x290

Obukooti bw'oku mazzi mulimu ebicupuli...

OBUSEERE n'ebicupuli by'obukooti obutangira abantu okubbira mu mazzi bitabudde abeeyambisa entambula y'oku mazzi....

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku Whats App ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa