TOP

Bannantameggwa ba Liigi ya yunivasite bavumbedde

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2018

BANNANTAMEGGWA ba Liigi ya yunivasite aba Uganda Martyrs Nkozi bali ku bunkenke obw’okwesogga Semi za sizoni eno oluvannyuma lw’okukola amaliri ga 1-1 mu nsisinkano ya “quarter” eyasoose ne Kyambogo e Nkozi.

Vitasobboowaumukuddyongattunkanemosesaligenyirawakyu 703x422

Vitas Obbo owa UMU ku ddyo ng'attunka ne Moses Aligenyira owa KYU

Bya GERALD KIKULWE

UMU bukya liigi etandika baakafuna wiini 3 mu mipiira 7, amaliri ga mirundi 3 ne bakubwa gumu era baamalira mu kya kubiri mu gy’ekibinja D ekitaddewo obweraliikirivu naddala bwe baalemeddwa okuwangulira awaka “quarter” eyasoose ku Lwokutaano (October 12) nga kiyinza okubawa akaseera akazibu okufunira obuwanguzi ku bugenyi e Kyambogo wiiki ejja okusobola okwesogga Semi za sizoni eno.

Shafik Bisaso omutendesi UMU agamba nti abayizi babadde n’eby’okukola bingi ku ludda olw’emisomo gyabwe ekireetedde ffoomu yaabwe okuddirira olw’obutafuna budde bumala mu kutendekebwa naye ng’alina essuubi nti ku Lwokutaano olujja (October 19) bagenda kufiira ku Kyambogo okwesogga semi.

Tevin Kyeyune ye yateebedde UMU ate Emmanuel Mwesigwa n’ateebera KYU.

Eno ye sizoni eyo 7 nga MUBS ne K.U baakagiwangula emirundi 2 buli omu, UMU ne MUK omulundi gumu buli emu  ate endala zinoonya kisooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’