TOP

Abakiise ba FUFA bali Kabale mu ttabamiruka

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2018

LEERO (Lwamukaaga) abakiise ba FUFA lwe batuula mu ttabamiruka waabwe (FUFA Annual General Assembly) ow’omulundi ogwa 53 okuteesa ku bituukiddwaako mu mupiira omwaka guno n’ebinaaguyamba okweyongerako omwaka ogujja.

Imgm5928e15300936785801132509 703x422

Ahmed Hussein, omwogezi wa FUFA

Ttabamiruka ono agenda kutuula mu White Horse Inn mu disitulikiti y’e Kabale ng’asuubirwamu abakiise 88. Basuubirwa okuteesa ku ngeri gye bagenda okukulaakulanyaamu omupiira okuva ku mutendera ogwa wansi okutuuka ku ddaala erisembayo (Cranes).

Mu bintu birala ebisuubirwa mu ttabamiruka ono kuliko; okusomera abakiise ennyingiza ya FUFA n’ensaasaanya y’omwaka guno era baweebwe omukisa okugyekenneenya. Oluvannyuma baakubasomera embalirira y’omwaka ogujja bamanye ssente ezeetaagisa ku buli mutendera gwa mupiira okutuukira ddala ku Cranes, emirimu gya FUFA emirala, emisomo gy’abatendesi, pulojekiti za FUFA n’ebintu ebiarala.

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein yategeezezza nti ttabamiruka w’omulundi guno asuubirwa okuyisa embalirira esuubirwa okulinnya ku y’omwaka guno kuba pulojekiti nnyingi ze balina okukola nga zirina kusooka kuyisibwa abakiise bazitegeere.

“Buli mwaka abakiise tulina okubalaga bye tukoze ne bye tulina okukola mu mwaka oguddako era bonna balina kusooka kubitunulamu ne babikkiriza oba okubikubaganyaako ebirowoozo,” Hussein bwe yagambye.

Ensonda okuva mu bakiise zaategeezezza nti ensonga ya FUFA okuwa kkampuni ya StarTimes, ddiiru y’okulaga liigi okumala emyaka 10, esuubirwa okutunuulirwa ennyo kuba bangi ku bo tebaagimatira.

Hussein yategeezezza nti buli nsonga egenda okuteesebwako, yalambikiddwa bulungi era balinze kye banaasalawo olwo kissibwe mu nkola nti kuba kye kibatutte e Kabale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo