TOP

Aba ddigi n'emmotoka bawera kweraga byuma

By Ismail Mulangwa

Added 20th October 2018

ENKYA (Ssande), abavuzi ba ddigi abasukka mu 60 n’aba mmotoka baakwegera eryanyi nga battunka e Garuga. ISMAIL MULANGWA akutuusaako ebimu ku byesungibwa mu mpaka zino.

Aaaaaaabig703422 703x422

Olutalo lw’engulE Kumpi ku buli mutendera, abavuzi abana abagukulembedde buli omu asobola okuguwangula engule.

Buli muvuzi alina ekigendererwa kya kukuh− haanya bubonero obumusobozesa okuwangula engule y’omwaka guno kuba eno ye laawundi eddirira esembayo ku kalenda ya ddigi.

Emitendera okuli oguddirira abato (MX50cc), oguddirira bakafulu (MX2), ogwokuna (85cc), ogwokusatu (MX125), ogw'abato (Peewee), ogwokutaano (MX65cc), ogw'abakyala n’ogwa bamuzeeyi (MX Vets), gye gisinga okubeeramu ebbugumu n’embiranye nga era buli omu azze awera okwetikka obuwanguzi.

Ekisaawe okukyuka Leilah Mayanja, omutegesi w'empaka zino, yategeezezza nti ekisaawe kyakyuse nnyo, okwawukanako eky’e Busiika.

Ekisinga okuba eky’enjawulo bwe bukuta n’omusenyu ogwayiiriddwaayo okutangira abavuzi okufuna ebisago eby'amaanyi singa bagwa, era agamba nti kino baakikoppye Zimbabwe.

Blick ayagala ngule ya 11 Maxime Van Pee y’omu ku bavuzi abatadde Arthur Blick Jnr ku bunkenke nga w'akolera ensobi yonna mu laawundi ey’omusanvu eddirira esembayo ku kalenda ya ddigi, waakusubwa engule eno.

Blick y'akulembedde ku mutendera gwa bakafulu (MX1) n’obubonero 296 n’addiriwa Maxime Van Pee 221.

Omwaka oguwedde engule yawangulwa Maxime era okuva 2014-2017 yabadde aziwangula.

EBIRALA

  • Ronald Sebuguzi (42), Jas Mangat (40) ne Chtistakis Fitidis (38), bonna bakyalina omukisa ogusitukira mu ngule. Bonna baakweraga ebyuma mu mpaka z’omwetooloolo (Sprint) nga beetegekera empaka za Elgon Rally e Mbale ezikomekkereza kalenda ya mmotoka, era empaka zino bagenda kuzeeyambisa okubateekateeka.
  • Buli muvuzi ayagala okukakasa nti agwana okubeera ku ttiimu y'eggwanga egenda okwetaba mu mpaka za 'East and Central Africa', e Kenya mu December.
  • Abooluganda Milton Obote Akaki ne Milton Obote Akena bawera kuzuuza Jeremiah Mawanda engule. Mawanda yeefuga omutendera gwe bavugiramu ogwa (MX65cc. Akaki agamba nti Mawanda ku mulundi ogusembyeyo yamuwonera watono ddigi ye bwe yafuna obuzibu n’atasobola kuvuganya bulungi. Mawanda y’akulembedde n’obubonero 293 ng’asinga Akaki obubonero 29 n’addirirwa Akena ku bubonero 241.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba