TOP

Villa yeetaaga wiini esooka

By Hussein Bukenya

Added 20th October 2018

SC Villa okudda engulu erina okuwangula Bright Stars omwayo e Mwereerwe, leero (Lwamukaaga) nga bambalagana mu liigi y’eggwanga.

428643521435883193223253824366084239917056n 703x422

Abazannyi ba Villa nga bali mu nsiike

Vipers - Nyamityobora, Kitende

Bright Stars - SC Villa, Mwererwe

Mbarara City - Maroons , Kavumba

Wabula omupiira guno gwandiba omuzubi eri Villa kuba ttiimu gy’erumbye y’ekulembedde liigi ate ekalubira nnyo omwayo.

Omupiira gwa bunkenke kuba buli ttiimu emu yeetaaga obuwanguzi okutuukiriza ebigendererwa byayo.

Bright Stars eyagala kwenywereza ku ntikko, ate Villa erwana kufuna kifo kirungi kuba singa ekubwa, ate Maroons n’ewangula Mbarara City, y'egenda (Villa), okuddirira asembye.

Villa yaakazannya emipiira ebiri ng’erina akabonero kamu ke yafuna ku Kirinya Jinja SS ate Onduparaka yabawangula ggoolo 1-0.

Vipers, ekyazizza Nyamityobora ng'enoonya wiini yaakuna, kyokka James Odoch, atendeka Nyamityobora agamba nti wadde Vipers omwayo si nyangu, agenda kugifiirako kuba obubonero ebwagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.