TOP

'Kino ekikopo kyaffe'

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2018

Emery agamba nti akimanyi omupiira gwa Arsenal ne Spurs gwa mbiranye naye ku luno waakussaawo eky’enjawulo kuba ayagala kuwangula kikopo.

Emery22 703x422

Emery

OMUTENDESI wa Arsenal, Unai Emery ayogeza maanyi nti ekikopo kya Carabao Cup, alina okukiwangula wadde ng'emipiira egisigaddeyo, akalulu kanaamusuula ku ttiimu ennene.


Kino kizzeewo oluvannyuma lwa Arsenal okugwa ku Spurs ku ‘quarter’ y'empaka zino. Okutuuka ku luzannya luno, Arsenal yaggyeemu Blackpool ate Spurs n’ewandula West Ham.


Emery agamba nti akimanyi buli Arsenal lw’esisinkana Spurs guba mupiira gwa mbiranye olw’ekibuga London zonna gye zisibuka naye ku luno waakussaawo eky’enjawulo kuba ayagala kuwangula buli ttiimu gy’agenda okusanga mu mipiira egisigaddeyo alabe ng’awangula ekikopo. “Ekikulu kya kuwangula tweyongeryo ku semi eneetuusa ku fayinolo,” Emery bwe yategeezezza.


Wabula ne Mauricio Pochettino atendeka Spurs agamba newankubadde akimanyi Emery mulungi naye ne Spurs, eyagala buwanguzi. 'Quarter yaakuzannyibwa mu December.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.