TOP

Eya Cricket egenze ewaga

By Silvano Kibuuka

Added 5th November 2018

Ttiimu y'eggwanga eya Cricket Cranes egenze mu Oman okwetaba mu mpaka ezinaagiyamba okwesogga World Cup

Cricketweb1 703x422

Katende Semakula ( ku ddyo) ne Cody Lorance owa kkampuni ya Endiro Coffee, nga bakwasa kapiteeni wa Cricket Cranes Roger Mukasa bbendera n’omujoozi nga bagenda mu mpaka za ICC Cricket League .

ABAZANNYI ba ttiimu y’eggwanga eya Cricket Cranes, bataka mu mu kibuga Muscat ekya Oman, gye baagenze okwetaba mu mpaka za ICC World Cricket League.

Uganda egenda kusindana n’amawanga okuli Denmark, USA, Singapore, Kenya, ne Oman, mu mpaka ezitandika ku Lwokusatu nga November 7, zikomekkerezebwe nga November 21, era yagenze ewera kuzannya gwa kufiirawo esobole okuva mu kibinja ekyokusatu okugenda mu kyokubiri, mu kaweefube w’okuyitamu okugenda mu z’ensi yonna mu 2023.

Omwaka oguwedde ttiimu eno yavuumbeerera mu kibinja ekyokusatu mu mpaka ezaali mu Uganda e Lugogo, n’edda mu kibinja ekyokuna, wabula  yavuddeyo n’edda mu kibinja ekyokusatu, mu mpaka ezaabadde mu Malaysia mu May, mwe yakwatidde ekisooka.

Omumyuka wa ssaabawandiisi wa NCS, David Katende y’akwasizza ttiimu bbendera y’eggwanga, n’annyonnyola nti baabawadde ensimbi obukadde 10 basobole okulekera abantu baabwe ssente ez’okukozesa.

“ Tubalinamu essuubi kubanga beetegese okusinziira ku mpaka ennyingi ze beetabyemu. Tusiima abavujjirizi aba Endiro Coffee abatadde ssente mu ttiimu okugula emijoozi n’ebirala”, Katende bwe yategeezezza.

Abazannyi abagenze kuliko;  Roger Mukasa (Kapiteeni), Anold Otwani, Hamu Kayondo, Ronak Patel, Dinesh Nakrani, Riazat Ali Shah, Deus Muhumuza, Irfan Mohammed Afridi, Charles Waiswa, Frank Nsubuga, Bulal Hassun, Henry Ssenyondo, Brian Masaba ne Kenneth Waiswa.

Omutendesi ye Steve Tikolo okuva e Kenya ng’amyukibwa Jackson Ogwang Oyuku. Omusawo ye Habiba Anguyo ng’ekibinja kikulembeddwa Jackson Kavuma, akola nga maneja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...