TOP
  • Home
  • Rally
  • Ssebuguzi asaliddwaako obubonero

Ssebuguzi asaliddwaako obubonero

By Nicholas Kalyango

Added 5th November 2018

Ronald Ssebuguzi, n'abavuzi ba mmotoka z'empaka abalala 15 basaliddwaako obubonero lwakulemererwa kugoberera mateeka

Sebuguzinewweb 703x422

Ronald Ssebuguzi mu mpaka ezimu

NG'ABAVUZI beetegekera empaka za mmotoka eziggalawo kalenda y'omwaka guno, nnantameggwa wa 2006, 2009 ne 2014, Ronald Ssebuguzi, agiddwa ku ntikko y'abavuganya ku ngule eno.

Ssebuguzi abadde akulembedde n'obubonero 340, wabula ekibiina ekitwala omuzannyo gwa mmotoka z'empaka mu ggwanga 'The Federation of Motorsports clubs of Uganda' (FMU), kyatudde ne kisalawo okuggya obubonero bw'empaka za Pearl of Africa Rally, ku bavuzi abaali batabugwanidde.

 onald sebuguzi Ronald Ssebuguzi

 

Christakis Fitidis, nnantameggwa w’omwaka oguwedde, ye yawandika ng'asaba obubonero obwagabwa mu mpaka ezo ezaaliwo mu June, bwekeneenyezebwe kuba abavuzi abamu baali bavugira mu kiraasi etabufuna (Group S). Mu mpaka zino, abavuzi baalina okukozesa ttanka empya ekika kya 'FT3 safety fuel tanks' ezaayisibwa ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu nsi yonna (FIA).

Bangi ku Bannayuganda tebaalina ttanka zino olw'obuseere kwe zaali n'ebbanga ettono eryaliwo wakati w'empaka, n'olunaku ekiragiro kwe kyayisibwa FIA. Abavuzi abamu bwe batyo baateekebwa mu kiraasi 'S', nga muno baalina okusalwako ku bubonero bwe baali bakung'anyinzza.

Pulezidenti wa FMU, Dusman Okee, yagambye nti baabadde balina okussa mu nkola akawayiro 7.1.1 1 akafuga okuvuganya ku ngule y'eggwanga, nga  baggya obubonero ku bavuzi abaabade tababugwaanira.

Omugatte abavuzi 16, be baakoseddwa ensalawo eno.

Kati Jas Mangat y’akulembedde engule y’eggwanga, kyokka Ssebuguzi awera kuwangula mpaka ezisembayo ezigenda okubeera Mbale wiikendi eno, alabe ng’engule agiwangula.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...