TOP

Express eyiiseemu obukadde 400

By Musasi wa Bukedde

Added 7th November 2018

Express eyiiseemu obukadde 400

Kip1 703x422

Mark Rowles (ku kkono), maneja wa Betway mu Johannesburg ekya South Afrika, Adellah Agaba maneja wa Uganda, Kiryowa Kiwanuka ne Francis Buwule.

Mu StarTimes Premier League

Express - Vipers, Wankulukuku 10:00

Police - Tooro Utd, Lugogo 10:30

Maroons - Onduparaka, Luzira

Paidha - Mbarara City, Arua

EXPRESS FC ebyayo biramu bw'eyiiseemu kavu wa bukadde 400 okuva mu kkampuni ya Betway. Ssente zino zigenda kukola okumala sizoni emu. Ettu lino lyabaddemu emijoozi n’ebintu ebirala, era we lyatuukidde nga Express yeetegekera kukyaza Vipers e Wankulukuku leero, mu liigi ya StarTimes Premier League.

Omupiira guno gutuukidde mu kaseera nga buli ttiimu yeewulira eryanyi era buli omu awera kusirisa munne.

Sizoni ewedde, Vipers yawangula ensiike zombi omwali n’okutimpula Express ggoolo 5-0 e Kitende.

Mu kaseera kano, Express eri ku ffoomu esinga ku ya Vipers kuba mu mipiira ena egisembyeyo ewanguddeko esatu n’okulemagana gumu.

Vipers mu mipiira gye gimu ewanguddeko ebiri n’okulemagana 2. Eggulo, omutendesi wa Express, Kefa Kisala, eyabadde ku mukolo kwe baabaweerede kavvu ku Hotel Africana, yategeezezza nti Vipers bw’ogigeraageranya ne ttiimu ye, esingira wala kumpi mu buli kimu. "Vipers y’emu ku zitannawangulwa, sso nga ffe twakubwaako ne ggoolo 3-0, wabula enkwata y’omupiira gwa leero egenda kuba ya njawulo era abantu basuubire okulaba Express ennongooseemu,” Kisala bwe yategeezezza.

OBUKULU BW’ENSIIKE ENO

Vipers bw'ewangula esigala ku ntikko ku bubonero 17 sso ng'obuwanguzi bwa Express, eri mu kyokutaano bugituusa ku bubonero 14 ne yenkana Vipers. 

Omuzungu wa Vipers, Javier Martinez, awezezza emipiira ebiri egiddiriηηana nga tawangula (KCCA 1-1 ne Kirinya 2-2), era agenda kulwana okulaba ng'afuna obuwanguzi mu gwokusatu.

Express okufuna siponsa kigenda kugyongera amaanyi kuba bagenda kwagala okutandika n’obuwanguzi ku mupiira gwabwe ogusooka, balage abaabataddemu ensimbi nti tebaakoze nsobi.

Tony Odur ne Ibrahim Kayiwa, abaaliko mu Vipers mu kaseera kano be batambulirwako mu Express nga nabo bagenda kwagala okulaga abaaliko bakama baabwe nti bakyayokya.

Odur, eyawangulira Vipers ekikopo, yagambye nti atunuulidde kuwangulira Express bikopo era agenda kulwana afune ggoolo. Ono yefaananyirizzaako Dan ‘Muzeeyi’ Sserunkuuma eyayabulira Express okugenda mu Vipers, nga naye eyaweze okugifi irako.

Emipiira gyombi Vipers gy’eremeddwa okuwangula Aggrey Madoi ne Taddeo Lwanga babadde tebagizannya, wabula eggulo kyakakasiddwa nti leero mwe bali. Lwanga, eyaliko ssita wa Express (kati ye kapiteeni wa Vipers), yafuna kaadi emmyuufu nga bawangula Villa 3-1, ate Madoi abadde mulwadde.

DDIIRU YA EXPRESS Betway kati y’egenda okulangira ku mijoozi gya Express ssaako n’ekisaawe. Ssentebe wa kiraabu eno, Kiryowa Kiwanuka eyabadde n’abamu ku bakungu ba ttiimu eno; Francis Buwule ne Hajji Hassan Bulwadda abaaliko bassentebe, yasiimye Bulwadda okukola ennyo okutaasa Express okusalwako sizoni ewedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...

Kola 220x290

Obwavu bwamugabisa omwana wange...

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza...